"Siyinza kulowooza ku kintu kirala nga mmange tannabeera bulungi"

Oct 10, 2024

"Nsubwa omuzannyo gw'okwepena"

By Musasi Bukedde
Journalist @New Vision

Okimanyi bulijjo mpulira abantu banyumya ebiri mu ggulu nga mbawakanya naye leero nzikirizza bye boogera bituufu?
Mbuno ki mukwano?

Wamma ofaayo bwondagirirako ku kkubo erigenda mu ggulu nange njagala ntuukeyo neerabireko n’agange baleme kuddamu kunnyumiza?
Wabula musajja wattu kati oba ani akumpendulidde ojje okumbuulira ebitakwatagana!

Anti obulungi bwoliko ne ffiga yo ndabidde ddala malayika ava mu ggulu!
Hahahahaha naye bavubuka mmwe ebigambo mubigyawa, ekyo obwedda simanyi gy’ogenda kukiwunzikira.

Toseka mwana ggwe, nze sooka ombuulire bwe mubeera eyo mu ggulu ne bamalayika Gabudyeeri bakweyitira linnya ki nange lye mba nkozesa?
Kyokka bannange, nze Olivia Kwagala.

Kati bwe mubeera eyo mulya biki ebibanyiriza bwebityo, ndowooza biwooma okukamala?
Njagala nnyo akawunga n’ekibumba ekisiike.

Kale sooka ombuulire ku mulimu gw’okola ogukuwa emirembe bwe gityo?
Ntunda nsawo z’abakyala ate nina n’ekibiina kya ba Ushers ekya Crystals kye nnatandikawo.

 

Kati bw’ozuukuka ekiro okusaba essaala y’essaawa 9.00, Mukama omusaba ki kyoyagala akuwe kuba ndaba buli kimu okirina?
Ankuumire maama wange Teopista Namukasa kuba mwagala nnyo omukyala oyo.

Wamma singa wali musawo, ne bakuleetera maama wo ne boyfriend wo agenda okukukuba embaga osooka kukola kwani?
Maama wange mukwano siyinza na kulowooza kintu kirala nga tannabeera bulungi.

Ng’oggyeeko maama wo, kintu ki ekirala ekikuleeta akamwenyumwenyu ku matama?
Njagala nnyo okulambula naddala ebintu nga birimu okulinnya ennyonyi.

Ye ali atya sserurungi wo gw’owaana buli kiro nti awoomerera okukira omubisi gw’enjuki?
Tunuulira bulungi engalo zange ozeetegereze, bwolabako akaweta konna ng’oddamu ombuuza ekibuuzo ekyo.

Wamma olowooza kiva ku ki bawala banno nga balungi nga ggwe okubeera nga babonaabona ng’ababba endeku mu ssabo?
Okulowooleza mu kubawa buli kaseera n’obutaagala kukola kye kibaviirako okubayisa nga bakateeyamba.

Kintu ki kye wakola mu buto nga mu butuufu okisubwa wandyagadde okuddamu okukikola naye nga tekikyasoboka?
Nsubwa nnyo omuzannyo gw’okubuuka n’okwepena, nze tewali yali ampunyamu ku kyalo kyonna.

Mbadde wano ne nzijukira, lwaki edda abaana abawala tebaabakkirizanga kulinnya miti yadde ng’abamu baawalazanga empaka ne bagirinnya ate ne gitakala nga bwe baatutiisanga?
Hahahaha simanyi lwaki, naye ndowooza baalingabatutiisa okugwa nga tuyinza okumenyeka ate nga tulwawo okuyunga.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});