Kitalo! Abazigu b'ebijambiya balumbye ekyalo Mizizi mu disitulikiti y'e Kagadi ne batema abantu 8, abalala ne baddusibwa mu ddwaaliro nga biwala ttaka!

Oct 30, 2024

Abazigu b’ebijambiya balumbye ekyalo ne batemaatema abantu abantu ne batta  8 n’abalala ne babaleka n’ebisago eby’amaanyi.

NewVision Reporter
@NewVision

Abazigu b’ebijambiya balumbye ekyalo ne batemaatema abantu abantu ne batta  8 n’abalala ne babaleka n’ebisago eby’amaanyi.

Bino byabaddewo ku Lwokubiri ekiro ku kyalo Mizizi A mu ggombolola y’e Kyaterekera mu disitulikiti y’e Kagadi abazigu abeebijambiya bwe baalumbye ku ssaawa 3:00 ez’ekiro ne batemaateka abantu  16 ne baleka nga basse 8 abalala ne baleka nga bataawa.

Abamu ku bantu abattiddwa eggulo.

Abamu ku bantu abattiddwa eggulo.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke yagambye nti abazigu  abatannategeerekeka baatemyetemye abantu 8 nga ku bano kuliko Roger Boniface Nyirambe 41, Yokononia Isakara 76, Norah Kabuwere 64, Praise Muhindo 7, Anita Kabugho 44, Masika Kabagenyi 3, Ferdinand Baluku ne Olive Kabugo 13.

Yagambye nti abazigu bano baalumizza abantu abalala 8 nga baddusiddwa mu malwaliro ag’enjawulo okufuna obujjanjabi  ku kyalo Kyaterekera nga bali mu mbeera mbi nga ekigendererwa kya bazigu tekinnategeerekeka.

Ono yattiddwa naye.

Ono yattiddwa naye.

Yategeezezza nti oluvannyuma lw’obulumbaganyi buno, abaserikale nga beegatitddwako ab’amagye baagenze mu kifo awaagudde enjega ne babaako abantu babiri abateeberezebwa okwenyigira mu ttemu lino ne babakuba amasasi agaabatiddewo okuli Obedi Baguma 33 ne David Munyirambe.

Yagambye nti poliisi eri mu kunoonyereza okusobola okuzuula abazigu abaabadde emabega w’ettemu lino ssaako n’okuzuula ekiyinza okuvaako obuzibu oba nkaayana za ttaka oba ensonga endala yonna.

Yategeezezza nti bonna abanaakwatibwa baakuvunaanibwa emisango okuli egy’ettemu, n’okugezaako okutta era nga balinze abaasimatusse okubaako sitatimenti ze bakola okulaba oba balina be beetegereza abaabalumbye.

 

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});