Abakulembeze e Kalangala balambudde ekidyeri kya MV Ssese ekiddaabirizibwa
Nov 21, 2024
NG’eki dyeri kya MV Ssese kiddaabirizibwa, abakulu okuva mu ofiisi ya RDC ssaako abakulembeze e Kalangala babitaddemu engatto okugenda okwekenneenya oba ebirina okukolebwa bituukirizibwa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
NG’eki dyeri kya MV Ssese kiddaabirizibwa, abakulu okuva mu ofiisi ya RDC ssaako abakulembeze e Kalangala babitaddemu engatto okugenda okwekenneenya oba ebirina okukolebwa bituukirizibwa.
John Baptist Lubega avunaanyizibwa ku ntambula y’ebidyeri bino agamba nti tebirina lunaku lwe biwummula kale nga kibakakatako okumanya ebigenda mu maaso.
“Mu kiseera kino yingini zonna tutandise okuziyiwa era tugenda kumala wiiki bbiri nga tussaamu ebyuma ebipya,” Lubega bwe yagambye. Polof. John Senfuma ssentebe w’akakiiko ka Kalangala Infrastructure Services Limited (KIS) abaddukanya ebidyeri bino agamba nti kyakuwemmenta emitwalo gya doola 15. “Okwegendereza kwe
tussaamu ssaako ebyuma tulina kusooka kukakasa nti ababikolako bakugu mu kuzimba yingini kubanga ensobi yonna ekolebwa yandivaako obulamu bw’abantu n’ebintu byabwe okusaanawo,” Senfuma bwe yayongeddeko.
Bannakalangala bazze bawanjaga ebidyeri bino bitandike okukola ekiro waakiri okutuuaku ssaawa 4:00 ate bikeere ssaawa 10:00 nga bukya okubasobozesa okutambuza ebyamaguzi byabwe, abalwadde n’ebirala. Polof. Senfuma agamba nti endagaano yaabwe eyasooka
eggwaako mu June omwaka ogujja temwalimu bidyeri kutambula kiro mu nnongoosereza ze baagala okukola baagala okukissaamu era enteeseganya ne Gavumenti zaatandika dda
No Comment