Poliisi eyigga banne ba Alien 18 ku by'okukuba abasawo e Nsambya ku ddwaaliro

Nov 26, 2024

OMUYIMBI Alien Skin eby’okumuyimbula bikalubye ,omukuumi gwe yakuba akyali mu mbeera mbi oluvanyuma lw’okufuna obuvune ku bwongo ate ne banne 18 abadduka bakyanoonyezebwa.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUYIMBI Alien Skin eby’okumuyimbula bikalubye ,omukuumi gwe yakuba akyali mu mbeera mbi oluvanyuma lw’okufuna obuvune ku bwongo ate ne banne 18 abadduka bakyanoonyezebwa.

Oludda oluwaabi mu kkooti e Makindye lwategeezezza nti emisango egivunaanibwa Alien Skin gyandikyuka essaawa yonna kubanga omuntu omu Alex Odong gwe yakuba ku ddwaliro e Nsambya asizza ku byuma era abalina okulinda embeera ye ekyukeko balabe ekiddako.

Alien Ng'awuliriza Mu Kaguli Ka Kkooti.

Alien Ng'awuliriza Mu Kaguli Ka Kkooti.

Omuwaabi wa gavumenti Harriet Adong yabadde mu maaso g’omulamuzi Esther Adikini owa kkooti y’eddaala erisooka e Makindye n’asaba kkooti ereme kuyimbula Patrick Mulwana amanyiddwa nga Alien Skin ne kanyama we Julius Mugabi.

Adong yagambye nti ebifaananyi ebyakubiddwa Odong mu ddwaliro biraga nti obwongo bwakoseddwa nnyo ng’ate n’embeera ye tennawa ssuubi, n’olwekyo ssinga tewabaawo kikyuka empaaba y’oludda oluwaabi eyinza okukyukamu.

Yayongeddeko nti era bakyayigga banne ba Alien 18 nga ssinga kkooti eyimbula Alien kijja kugootaanya okubayigga kubanga y’abakulira ng’ayinza okubakweka ate ne kikosa obujulizi bw’oludda oluwaabi.

Adong bino yabibuulidde kkooti bwe yabadde ayanukula ku kusaba kw’okweyimirirwa okwateereddwamu bannamateeka ba Allien abaakulembeddwa Precious Nahabwe.

Bannamateeka bano baategeezezza kkooti byonnna ebyayogeddwa oludda oluwaabi byakuteebereza nti era tebiriiko mutwe na magulu era kkooti tesaanye kubyesigamako ng’ekola okusalawo kwayo.

Abaserikale Nga Batwala Alien Mu Kkooti E Makindye

Abaserikale Nga Batwala Alien Mu Kkooti E Makindye

Nahabwe yayongeddeko nti sikyabwenkanya oludda oluwaabi okuleeta fayiro n’etuuka mu kkooti ng’ate tebannamala kunoonyereza  nti era Alien muyimbi wa linnya ow’amaanyi mu ggwanga nga tayinza kutaataaganya kunoonyereza kwonna.

Allien era yategeezezza kkooti nti musajja mufumbo, taata w’abaana basatu nga bonna bayimiriddewo ku lulwe bwatyo bw’abeera mu kkomera bakosebwa nnyo olw’obutafuna byetaago.

Ono yaleese abamweyimrira okuli nnyina Juliet Nanyanzi 60 , muganda we ne mukwano era omuwaabi wa gavumenti yagambye nti alaba basaanidde okusinziira ku bye baleese mu kkooti.

Kyokka abazze okweyimirira Mugabi omuwaabi wa gavumenti yabawakanyizza ng’ababiri ku bo mikwano gye yagambye nti essaawa yonna babulawo okuggyako mwannyina Maureen Mbabazi kyokka naye empapaula yaleese nga tezikwatagana.

Omulamuzi yalagidde bano bakomezebwewo mu kkooti

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});