UCC eyiye obuwumbi 3 mu MUBS okubangula Bannayuganda mu nzirukanya ya bizinensi
Dec 10, 2024
EKITONGOLE ekivunanizibwa ku by'empuliziganya muggwanga ekya UCC kyongedde bbiriyooni 3 eri Makerere University Business School e Nakawa ziyambeko mu kwongera okubangula Bannayuganda mu nzirukanya ya zi bizinensi nga beeyambisa tekinologiya.

NewVision Reporter
@NewVision
EKITONGOLE ekivunanizibwa ku by'empuliziganya mu ggwanga ekya UCC kyongedde bbiriyooni 3 eri Makerere University Business School e Nakawa ziyambeko mu kwongera okubangula Bannayuganda mu nzirukanya ya bizinensi nga beeyambisa tekinologiya.
Dayirekita avunaanyizibwa ku by'okunoonyereza mu UCC, Christine Mugimba ategeezezza nti ssente zino baziyisizza mu pulogulamu yaabwe eya E Booster n'ekigendererwa eky'okulaba nti buli Munnayuganda asobola okukyusa obulamu kasita akozesa obulungi emitimbagano nga yeeyambisa tekinologiya ow'enjawulo okukola bizinensi .
Dayirekita Avunanyizibwa Ku By'okunoonyereza Mu Ucc Christine Mugimba Bweyabadde Ayogerako Eri Bannabizinensi
Pulinsipo akulira ettendekero lino, Polof. Moses Muhwezi agambye nti mu nteekateeka eno basuubira okuyamba bannabizinensi 5,000 naddala abo abataasoma nnyo kugenda wala naye nga balinawo bizinensi ezenjawulo ze baatandikako edda , bano bagenda kwongera obabangula mu nzirukanya yaazo ,engeri gye bakuumamu ebitabo ebizikwatako saako n'okubongeramu ku ssente n'ebirala bingi.
Kino basuubira okukitandikako omwaka ogujja 2025 era mumativu nti kiggya kuyamba nnyo okisitula ebyenfuna n'okulwanyisa olumbe lw'obwavu , anti obwavu mpologoma bw'oteerwanako ekulya.
Dayirekita Avunanyizibwa Ku By'okunoonyereza Mu Ucc Christine Mugimba Wamu N'abakungu Okuva Ku Mubs
"Tugenda na kusooka kulanga mu mpapula z'amawulire eri abo bonna abaagala okuganyulwa mu nteekateeka eno baseemu okusaba kwabwe, " Muhwezi bwe yagambye.
Dr Catherine Tindiwensi omu ku Bannayuganda abaaganyulwako mu nteekateeka eno ,agamba nti ye ne banne baatandawo 'app' eyunga abalimi ku balimisa era abalimi mu disitulikiti y'e Kayunga bagiganyuddwamu nnyo.
No Comment