Ab'endiga bakyadde ku butaka bwabwe e Mbale Mawokota ne boogera ku by'okkulaakulanya ekika

Dec 15, 2024

OMUKULU w'ekika ky'endiga,Omutaka Lwomwa Eria Buuzaabo Lwasi akunze abazzukkulu be okumweyungako okuteekawo pulojekiti ezinayimirizaawo emirimu gy'ekika. 

NewVision Reporter
@NewVision
OMUKULU w'ekika ky'endiga,Omutaka Lwomwa Eria Buuzaabo Lwasi akunze abazzukkulu be okumweyungako okuteekawo pulojekiti ezinayimirizaawo emirimu gy'ekika.
 
Lwasi nga ye Lwomwa owe 18 agamba nti ayagala okulaba ng'ekika kibeera n'ebintu Omuva ensimbi,ezitambuza emirimu gya kyo nga tekiyimirirawo ku kabbo okuva mu bazzukkulu kyokka!
 
"Ekimu ku byenjagala okuyitamu, y'enkulakulana eyitira mu masiga 17. Buli limu nnaliwadde ekatala buli mwezi okuwereeza ku kasolya 750,000/-. Zino singa zituuka,zikozesebwa mu bintu byetwagala okukola," Lwomwa Lwasi bweyagambye.
 
Ku Lwomukaaga December 7,2024 abazzukkulu baakunganidde ku Butaka bw'ekika kino obusangibwa e Mbaale-Mpigi Mawokota,okulamaga era Lwomwa n'awa ekiragiro nti atasobola buwereeza ku mitendera byonna okuli ensonga z'eddiini,ezzeeyo ekifundikwa mu Kika.
 
Ebintu ku bigenda okukolebwa by'ebimuli omukolerwa emikolo ku ofiisi y'ekika e Mmengo okuliraana ennyanja ya Kabaka. Okukola ekkaddiyizo ly'ebyedda ku Butaka e Mbaale saako n'ekitavu ky'ekika.
Lwomwa ng'ayaniriza abantu

Lwomwa ng'ayaniriza abantu

 
 Omukulu w'ekika ky'engeye, Omutaka Sheba Kakande Kasujja nga yeyabadde omugenyi omukulu yagambye nti omulembe oguliko kati gwa bika okweyubula okukozesa ennono n'obuwangwa okutumbula enkulakulana. 
 
Omutaka Kasujja agamba nti ng'Abataka Abakulira Ebika, bafungiza okulaba nga Kati tebakyamanyibwa mu nkola eri mwebamanyibwanga mu bukanzu n'engoye enkaddekadde wabula abatambula n'omulembe nga ku buli butaka kuteekebwako ebintu Omuva ssente. 
 
Yeebazizza enkolagana ennungi gyebalina ne Lwomwa okuva lweyatuuzibwa mu bukulu buno mu March 2024 oluvanyuma lw'okudda mu bigere bya Ying. Daniel Bbosa eyatemulwa nga February 25,2024.
 
Kasujja yagambye nti batambudde bonna n'okutuuka mu lutabaalo lwebagendako e Namibia okulaba Kabaka eyali mu ggwanga eryo wakati wa April-July 2024 n'agamba nti lwavaamu ebibala ntoko.
 
Omukolo guno gwetabiddwako avunanyizibwa ku kutumbula eby'enkulakulana omuli obusuubuzi n'obulambuzi mu disitulikiti y'e Mpigi Ronald Kazibwe Baagalamugagga. 
 
Ono yeyamye nga bwagenda okukwatagana n'ekika okukola okutumbula Obutaka bw'ekika ky'endiga nga batandikira mu kutereeza obulambuzi obuli mu mbuga ya Kibuuka Omumbaale. 
 
Godfrey Mayanja nga ye Ssentebe w'Olukiiko oluteekateeka okutandikibwa kw'ekitavu ky'ekika, ategezezza nga bwebamaliriza okuwandiisa Sacco eyitibwa Mumbaale Development Sacco nga muno ekika mwekigenda okuyita okukola enkulakulana omuli okutereka n'okusiga ensimbi. 
 
Ku lw'abamasiga, Omuwandiisi waabwe Yusuf Kabaale yatuusizza ebigambo byaabwe nga bano balina enteekateeka egenda okulaba ng'embuga z'amasiga zonna zikulakulanyizibwa
Bazzukulu ba lwomwa nga bali ku butaka

Bazzukulu ba lwomwa nga bali ku butaka

 
Dr. Sarah Nakatudde Nkonge Muwonge yakikkiridde Minisita Omubeezi owa Tekinologiya n'amawulire mu Uganda, Joyce Nabbosa Ssebuggwawo ng'ono asabye ekika okukola enteekateeka okuggya abeesenza ku ttaka lyonna ery'ekika kukolebweko enkulakulana. 
 
Famire, n'abantu ssekinoomu abawereeza ekika baawereddwa ebirabo eby'enjawulo ebibeebaza okukolerera ekika. 
Ends
 
Dsc_6666;- Omutaka Lwomwa Eria Buzaabo Lwaki (Ali mu kyambalo wakati), Omutaka Sheba Kakande Kasujja (Ali mu kkooti n'ekkanzu wakati ku ddyo) nga Bali mu kifananyi n'Olukiiko olukulembeze olw'ekika kyendiga. Aliraanye Lwomwa okuva ku kkono ye Ronald Kazibwe, atwala eby'obulambuzi,eby'obusubuuzi mu disitulikiti ye Mpigi.
 
Dsc_6164;- Omutaka Lwomwa Eria Buzaabo Lwasi (ku kkono) Omukungu wa disitulikiti y'e Mpigi nga bakwasa emu ku Famire eziwagidde emirimu gy'ekika.
Dsc_5937;- Omutaka Lwomwa Lwasi ng'ayogera.
 
Dsc_5288;- Omutaka Lwomwa Buzaabo Lwasi ng'ayaniriza Omutaka Kasujja Sheba Kakande (ku kkono) ku Butaka e Mbaale-Mpigi-Mawokota.
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});