Amawulire

Don Nasser yeeyimiriddwa

OMUDIGIZE w’omu Kampala, Nasser Nduhikire amanyiddwa nga Don Nasser kkootiemuyimbudde ku kakalu ka kkooti ka bukadde 3 nga kati alya butaala.

Don Nasser
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUDIGIZE w’omu Kampala, Nasser Nduhikire amanyiddwa nga Don Nasser kkooti
emuyimbudde ku kakalu ka kkooti ka bukadde 3 nga kati alya butaala.

Ono ng’abadde awezezza emyezi egigenda mu esatu ng’asula Luzira, omulamuzi ku kkooti
ewozesa bakalintalo Dr Andrew Bashaija yamutadde ku kakalu ka kkooti ka bukadde 3 ez’obuliwo ate abaamweyimiridde buli omu obukadde 50 nga ssi zaabuliwo.
Nasser abadde yasindikibwa mu kkooti enkulu ewozesa emisango gya nnaggomola omulamuzi wa kooti ya Buganda Road, Ronald Kayizzi era ono yateekamu okusaba
kw’okweyimirirwa ng’ayita mu munnamateeka we Roberts Kagolo. Nasser avuunaanibwa
emisango gy’okukabassanya wamu n’okukukusa omwana atanneetuuka era avunaanibwa n’omuwala ayitibwa Promise Ateete ng’ono yeeyimirirwa.

Tags: