Poliisi enoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku mukozi wa Picfare eyali yabula

Dec 27, 2024

Poliisi eri mu kubuuliriza ku ttemu eryakoleddwa e Nantabuuliirirwa mu ggombolola y'e Ggoma e Mukono, abantu abatannamanyika mwe battidde Jackson Andrew Nabusunyi omukozi mu Picfare eyali yabula ennaku eziyise ng'ava ku kabaga.

NewVision Reporter
@NewVision

Poliisi eri mu kubuuliriza ku ttemu eryakoleddwa e Nantabuuliirirwa mu ggombolola y'e Ggoma e Mukono, abantu abatannamanyika mwe battidde Jackson Andrew Nabusunyi omukozi mu Picfare eyali yabula ennaku eziyise ng'ava ku kabaga.

Mu ngeri y'emu era, poliisi e Katwe ebuuliriza ku ttemu eryakoleddwa mu zzooni ya Kizungu e era ng'omuntu atannategerekeka bimukwatako baamusse.

Ate era Omusumba w'ekkanisa y'Abalokole eya Ebenezer ministries ng'abeera mu zzooni ya Kivumbi e Bunnamwaya, Omusumba Kilford Ssenyonjo, akwatiddwa ku bigambibwa nti yakubye emu ku ndiga ze Allan Muyimbwa ow'e Katale Kajjansi amasasi mu magulu ng'amuyita omubbi.

E Kinnawataka, poliisi ekutte abantu 14 ku bigambibwa nti baabadde bagezaako okwagala okulumba abadigize okubabbako ebyabwe.

Ku Bayitababiri e Ntebe, omusajja agambibwa okuba ow’omutawaana amanyiddwa nga Dog city, Shafic Lubega  akwatiddwa oluvannyuma lw'okumuyigga ku misango egy'enjawulo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, agambye nti balina abaana 8 be balonze nga babuze.

Agasseeko nti, okutwaliza awamu ennaku enkulu, zibaddemu emirembe nga kyavudde ku kusomesa abantu ku ngeri y'okutangira obumenyi bw'amateeka awamu n'okwongera okunyweza ebyokwerinda mu bitundu eby'enjawulo.  

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});