Poliisi enoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku mukozi wa Picfare eyali yabula
Dec 27, 2024
Poliisi eri mu kubuuliriza ku ttemu eryakoleddwa e Nantabuuliirirwa mu ggombolola y'e Ggoma e Mukono, abantu abatannamanyika mwe battidde Jackson Andrew Nabusunyi omukozi mu Picfare eyali yabula ennaku eziyise ng'ava ku kabaga.

NewVision Reporter
@NewVision
Poliisi eri mu kubuuliriza ku ttemu eryakoleddwa e Nantabuuliirirwa mu ggombolola y'e Ggoma e Mukono, abantu abatannamanyika mwe battidde Jackson Andrew Nabusunyi omukozi mu Picfare eyali yabula ennaku eziyise ng'ava ku kabaga.
Mu ngeri y'emu era, poliisi e Katwe ebuuliriza ku ttemu eryakoleddwa mu zzooni ya Kizungu e era ng'omuntu atannategerekeka bimukwatako baamusse.
Ate era Omusumba w'ekkanisa y'Abalokole eya Ebenezer ministries ng'abeera mu zzooni ya Kivumbi e Bunnamwaya, Omusumba Kilford Ssenyonjo, akwatiddwa ku bigambibwa nti yakubye emu ku ndiga ze Allan Muyimbwa ow'e Katale Kajjansi amasasi mu magulu ng'amuyita omubbi.
E Kinnawataka, poliisi ekutte abantu 14 ku bigambibwa nti baabadde bagezaako okwagala okulumba abadigize okubabbako ebyabwe.
Ku Bayitababiri e Ntebe, omusajja agambibwa okuba ow’omutawaana amanyiddwa nga Dog city, Shafic Lubega akwatiddwa oluvannyuma lw'okumuyigga ku misango egy'enjawulo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, agambye nti balina abaana 8 be balonze nga babuze.
Agasseeko nti, okutwaliza awamu ennaku enkulu, zibaddemu emirembe nga kyavudde ku kusomesa abantu ku ngeri y'okutangira obumenyi bw'amateeka awamu n'okwongera okunyweza ebyokwerinda mu bitundu eby'enjawulo.
No Comment