Amawulire

Enguzi: Ebintu abagirya mwe bakweka ssente

OBULI bw’enguzi n’obubbi, kye kimu ku bizibu ebikyatawaanya gavumenti. Buli mwaka ssente eziwera obuwumbi 10,000 ze zibbibwa okuyita mu bulabbayi, obukenuzi, n’obulyake, okusinziira ku Kaliisoliiso wa gavumenti.Okusinziira ku kunoonyereza kwa Kaliisoliiso wa gavumenti, abali b’enguzi ssente zaabwe baziteeka mu bintu eby’enjawulo nga bagezaako okuzikweka, baleme kubategeera, era wano Kaliisoliiso wa gavumenti Beti Kamya, w’asinzidde okuleeta kampeyini y’okukunga abantu baabulijjo, okwenyigira mu kulingiriza ebintu ebikolebwa abakozi ba gavumenti kubanga be bakaliisoliiso abasookerwako.

Kaliisoliiso Beti Kamya
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Okusinziira ku kunoonyereza kwa Kaliisoliiso wa gavumenti, abali b’enguzi ssente zaabwe baziteeka mu bintu eby’enjawulo nga bagezaako okuzikweka, baleme kubategeera, era wano Kaliisoliiso wa gavumenti Beti Kamya, w’asinzidde okuleeta kampeyini y’okukunga abantu baabulijjo, okwenyigira mu kulingiriza ebintu ebikolebwa abakozi ba gavumenti kubanga be bakaliisoliiso abasookerwako.
Olw’obukodyo abalyake bwe bakozesa okukweka emmaali gye baba baguze mu ssente enzibe, kikaluubiriza abalwanyisa enguzi okununula ssente ezo, kubanga baba balina okugenda mu kkooti okuwoza, ate nga mu kkooti emisango girwawo, ekireetawo ebizibu ebirala, nga gwe babadde bavunaana okufa, ebyobugagga bye yagula okugeza emmotoka ne bikka ebbeeyi, n’ebizibu ebirala.

Eky’okulabirako, okusinziira ku lipooti ya Kaliisoliiso wa gavumenti ey’omwaka 2022/23, ssente eziwera 14,893,969,526/- ze zaanunulwa okuva ku bali b’enguzi nga ku zino, 6,193,969,516/- zaasasulwa mu mpeke, ate 8,700,000,000/- ne ziva mu bintu ebikalu abakenuzi bye baali baguze. Kyokka zandisinzeewo obungi, naye ebyobugagga ebirala byali bikyaliko okusika omuguwa mu kkooti mu misango 37. Ate mu mwaka gw’ebyensimbi oguwedde 2023/24, emisango 39 gye gikyali mu kkooti, nga gisibye okununula ssente za Bannayuganda okusinziira ku akulira enkola y’emirimu mu ofiisi ya Kaliisoliiso, Stephen Kasirye.
Wabula Kaliisoliiso Beti Kamya agamba nti singa buli muntu afuuka kaliisoliiso, kijja kubayamba okufuna amangu amawulire ku bakozi ba gavumenti abazimba ebyobugagga ebitagya mu misaala gyabwe, basobole okukola okunoonyereza mu bwangu n’okununula ssente ez’ekika kino.
EBINTU ABAKENUZI MWE BASIGA SSENTE ZAABWE
q Ettaka: Avunaanyizibwa ku kusomesa n’okukunga abantu okulwanyisa enguzi mu ofiisi ya Kaliisoliiso wa gavumenti, Gerald Gwayira, yagambye nti okunoonyereza kwe bazze bakola kulaga ng’abali b’enguzi abasinga, ssente zaabwe bazigulamu ttaka kwe bakolera emirimu egy’enjawulo naddala okulima n’okulunda. Ettaka lino emirundi mingi balwawo okuliteeka mu byapa, nga basooka kubeera na ndagaano nga abeebibanja, kubanga abanoonyereza ku bulyake bwe bagenda mu minisitule y’ebyettaka, tebasobola kuzuula ttaka lya kibanja. Bwe wayita ekiseera, nga balaba teri alondoola, awo nga balizza mu kyapa.
q Ebizimbe: Gwayira era agamba nti ebizimbe omuli ebikolerwamu bizinensi mu kibuga (Arcades), ennyumba z’abapangisa ez’ebbeeyi (Apartments), abali b’enguzi bakwekamu nnyo ssente, era ebizimbe eby’ekika ekyo bitera okuzimbibwa ku sipiidi ey’ekika ekya waggulu ennyo, olwa ssente okuba nga weeziri mu mpeke, kubanga ababbi batya okuziteeka mu bbanka gavumenti gy’esobola okuzirondoolera amangu.
Gwayira era agamba nti abakenuzi bateeka nnyo ssente mu bintu ebikola ssente okugeza amasomero, amalwaliro, wooteeri ggaggadde n’ebirala. Ebintu nga bino ssente ezibivaamu, nnyangu za kunnyonnyolera, gye ziva, okusinga ezibbiddwa ne ziteekebwa ku akawunti, era eno y’ensonga lwaki bwe babba banguwa okuzimbamu bizinensi nga zino, kye bayita ‘okutukuza ssente’. Okutukuza ssente kwe kufuna ssente mu makubo amakyamu, kyokka n’ozisiga mu bintu ebiri mu mateeka, n’ofunamu ssente entukuvu eziraga nti oziggye mu makubo matuufu.
q Okugula eby’okwejalabya: Gwayira yannyonnyodde nti abali b’enguzi abamu bwe bagwa mu ssente babeera nga abalalu ne batandika okugula ebintu eby’okwejalabya okugeza amamotoka ag’ebbeeyi, amaato, n’ebirala era bino babisuuzizza abakenuzi bangi mu gavumenti. Abalala ssente bazisiga mu baana baabwe nga babatwala mu masomero ag’ebweru w’eggwanga, naye nga omusaala gwe bafuna mutono nnyo okusobola okuweerera abaana mu nsi z’ebweru.
q Okusuubula ssente (Forex Trading): Ate ye akulira ekitongole ky’obwannakyewa ekirwanyisa enguzi ekya Anti-Corruption Coalition Uganda, Marlon Agaba yagambye nti okunoonyereza kwabwe kulaze ng’abakenuzi abamu ssente ze babbye baziteeka mu katale ka ssente mu nsi yonna, ne batandika okusuubula ssente nga bwe bafuna amagoba. Amagoba ge bafunye, buli lwe gatonnya ku akawunti zaabwe, gavumenti eba eziraba nga zivudde mu makubo matuufu ne basimattuka okunoonyerezebwako.
OBUKODYO BWE BAKOZESA OKUKWEKA EBYOBUGAGGA
l Okukola amakampuni: Gwayira agamba nti abali b’enguzi bawandiisa amakampuni nga mwe bayita okugula ebyobugagga eby’enjawulo. Amakampuni gano waliwo abagateeka mu mannya ga bazadde baabwe, abalala mikwano gyabwe, nga ssente ezivaamu ziyita mu mikono mirala okubatuukako.
l Okukozesa abaana n’abooluganda: Abamu ebyobugagga byabwe babiteeka mu mannya g’abaana baabwe oba baganda baabwe, naddala ku ttaka n’ebizimbe. Kino bakikola okwewala okwanjula ebyobugagga byabwe ewa Kaliisoliiso wa gavumenti, ng’etteeka lya ‘Leadership Code Act’ bwe lirambika.
l Abamu ettaka lye baguze balireka mu ndagaano okusobola okulikweka obulungi, kubanga ettaka ery’ebibanja teriri mu sisitiimu ya gavumenti etereka ebikwata ku ttaka mu ggwanga lyonna.

Tags: