Abakungubazi basiimye maama wa Kiganda olw'okukuza baana n'empisa

KABAKA wa Buganda ne Pulezedenti Museveni bakubagizza bisopu  Kiganda olw'okufiirwako maama we ne basaba abazadde okukuza abaana n'empisa ssaako n'okubayigiriza okukola.. .

Bishop Kiganda ng'ateeka ekimuli ku maama we
By Moses Lemisa and Moses Lemisa
Journalists @New Vision

KABAKA wa Buganda ne Pulezedenti Museveni bakubagizza bisopu  Kiganda olw'okufiirwako maama we ne basaba abazadde okukuza abaana n'empisa ssaako n'okubayigiriza okukola.. .

Musumba Jackson Sennyonga ne Mukyala we Jackie Ssennyonga

Musumba Jackson Sennyonga ne Mukyala we Jackie Ssennyonga

Kiganda abulidde abakungubazi ennaku gye yayitamu ne maama we gwe yagambye nti abadde amuyita muzira we , Restetutah Nampijja 85 yafa ku ssekukkulu aba Famire ne batabika  olw'okuba abantu baali mu bikujjuko nga kino baakikola okusoboola okutuukiriza ekiraamo kye eky'okumuziika mu kitiibwa 

Obubaka bwa ssabasajja bwasomeddwa Pokino Jude Muleke muziika e Masaka n'asaba abazadde okukuza abaana mu mpisa n'okubayigiriza okukola.

Obubaka bwa Pulezedenti  museveni yabuttise minisita  omubeezi ow'eby'obusuubuzi David Bahati nga pulezedenti yasiimye omugenzi olw'okuzaala abaana ab'omugaso mu gwanga  .

Omusumba Serwadda ng'abuuza ku bakunguzi

Omusumba Serwadda ng'abuuza ku bakunguzi

 Bahati ye yabadde omukungubazi omukulu mu kusabira omwoyo gw'omugenzi ku kkanisa ya Christianity Focus Center mu kwogera kwe  yasabye bannaddiini   okusabira eggwanga kuba guno omwaka gwa kalulu n'asaba Kiganda okwebaaza Katonda okuwangaazza maama kuba ye bazadde be baafa wa myaka esatu.

Omutume Dr Joseph Sserwada eyabuulidde ku mukolo gw'okuziika yasabye abantu okudda eri Katonda kuba alina obukakafu nti Nampijja yafudde mulokole  yagenze mu gulu.  Lord Mmeeya Erias Lukwago yasabye abasumba okuba obumu balabe nga balwanyisa etteeka gavumenti lye yagala okubateekako ng'omusumba atalina diguli tayimirira ku kituuti ku bulira.

Bishop  Kiganda yasesezza abakungubazi  bwe yannyumizza obulamu bwe baayitamu ne maama waabwe oluvannyuma lwa kitaabwe omugenzi Richard Kalido Ssemaganda  yagambye nti maama yalwala n'agenda muddwaliro gye yamala emyezi yagenda okudda awaka nga Ssemaganda awasizza omukazi omulala

Kino kyawalirizza  Nampijja okubasegulira n’apangisa  mu Nyendo  n'asombayo abaana be abawala  nga Kiganda kitaawe yamuganira nga Nampijja yamubbayo bubbi oluvannyuma olw,okulumwa envunza ezaamuluma ne ku mumwa ku ssomero ne bamukazaako erya kabaligaani  olw'envunza.

Olw'embeera embi gye baalimu  Kiganda yawalizibwa okutandiika okukola buli kika kya mulimu ku myaka 17 okwali okwokya omucomo gwe mbizi , okwoza engoye ku kyalo ne Mitala 

Aba Funeral service nga basitula omulambo gwa maama wa Kiganda

Aba Funeral service nga basitula omulambo gwa maama wa Kiganda

Omusumba Jackson Ssenyonga  eyayogedde ku lwe mikwano gya Kiganda yagambye  nti bwokulizza abaana mu mpisa bakuweesa ekitiibwa singa maama wa Kiganda teyabaakuza bulungi bandibadde tebamanyikiddwa we yamusimidde olw,okubuulira enjiri eri ku mulamwa

Abamu ku beetabye ku mukolo.gw,okusabira omwoyo  gw, omugenzi ku kkanisa ya Christianity Focus Center n'abaabadde mu kuziika kuliko  omumyuka wa IGG Anna  Muhairwe,  Ronald Balimwezo omubaka we Nakawa, abasumba kwabaddeko Alex  Mitala, Michael Kimuli, Michael Kyazze, John Bunjo ,Grivas Musisi, Ramanthan Mukisa , Irene Manjeri, Willison Bugembe, Bp Mukiibi eyakiridde omutume Joseph Sserwada ,  John Bunjo , Kasirye Zimula LC 5 e Kasanda , Abayimbi kwabaaddeko Justine Nabbosa, Africa Kirwana, abakungu abalala kwabaaddeko ,James Mubiru kansala we Lubaga , Emmanuel Sserunjogi meeya we Kawempe ,  n’abalala