OMUTUUZE e Kanungu yeekubidde enduulu mu kitongole kya poliisi eka PSU n'akisaba okunoonyereze ku baserikale ku poliisi eno olw'okumenya ennyumba ye lwa ndooliito za ttaka ne batafaayo so nga yabaloopera.
Hellen Asiimwe omutuuze ku kyaao Ibarya Cell Kihanda e Kanungu ye yeekubidde enduulu mu kitongole kya Professional Standard Unit (PSU) ng'agamba nti abaserikale ku poliisi eno baakutte bubi emisango gye okuli ogw'ettaka saako n'ókumumenyera ennyumba.
Ennyumba ya Asiimwe eyamenyeddwa
Asiimwe yagambye nti yeekubira enduulu poliisi e Kanungu n'aggulawo emisango okuli SD 43/03/10/2025 ogw'ókumumenyera ennyumba wamu n'ókumwonoonera ebintu bye wabula ne balemwa okukola okunoonyereza, kati ayagala wabeerewo okunoonyereza ku akulira okunoonyereza ku misango ku poliisi eno gattako n'ómuduumuzi waayo mu kitundu.
Asiimwe alumiriza nti nga September 29, 2025 omuduumuzi wa poliisi e Kanungu SP Grace Azira yagenda ku ttaka lino wabula waayiseewo ennaku ntono ne wabaawo bakanyama abaagenze ne bamenya ennyumba kyokka ensonga bwe yazitutte ku poliisi ne watabaawo kikolebwa.
Asiimwe ayagala bwenkanya
Yategeezezza nti era waliwo fayiro endala ezaggulwawo okuli CRB 135/2025 ne CRB 136/2023, GEF 137/2023 NE CRB 601/2023 nazo tezikwatiddwa bulungi.
Asiimwe agamba nti ennyumba eyamenyeddwa abadde asulawo ne nnyina Annah Kyahamutima era ng'aludde ng'alina abantu b'agugulana nabo ku by'ettaka b'alumiriza nti bandiba nga be bali emabega yókumenya ennyumba nga baagala okwezza ettaka.
Yasabye nti fayiro ze yaggulawo ku poliisi e Kanungu ziggyibweyo zitwalibwe mu ofiisi endala zisobole okunoonyerezebwako obulungi.