Omuvubuka agambibwa okusobya ku nnamukadde ow'emyaka 90 akwatiddwa
Jan 19, 2025
POLIISI e Kamuli ekutte omuvubuka ow'emyaka 28 agambibwa okusobya ku nnamukadde ow'emyaka 90.
By Godfrey Kigobero
Journalist @New Vision
POLIISI e Kamuli ekutte omuvubuka ow'emyaka 28 agambibwa okusobya ku nnamukadde ow'emyaka 90.
Antonio Emmanuel Ngobi, omutuuze w'e Nankulyaku mu Nothern diviizoni y’e Kamuli, y'akwatiddwa ku bigambibwa nti, yasobezza ku Nnamukadde ku kyalo Kulingo mu zzooni y’e Nankulyaku.
Kigambibwa nti omuvubuka ono omunywi w'enjaga, yalumbye nnamukadde n'amukonkona ekiro era bw'ataagguddewo, n'asindika oluggi n'ayingira ku kifuba, n'amusobyako.
Enkeera, nnamukadde yategeezezza baliraanwa, nabo abaatemezza ku poliisi era abasawo mu kumwekebejja ne bakikakasa, omuvubuka n'akwatibwa.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Micheal Kasadha, agambye nti okubuuliriza kugenda mu maaso.
No Comment