Janet Kataha Museveni asabye bannaddiini okubuulira enjiri ey'emisingi
Jan 27, 2025
MUKYALA w'omukulembeze w’eggwanga era nga ye minisita w'ebyenjigiriza n'emizannyo Janet Kataha Museveni asabye ababuulizi b'enjiri okubuulira nga enjiri ey'emisingi egiyamba abantu okwekulakulanya.

NewVision Reporter
@NewVision
MUKYALA w'omukulembeze w’eggwanga era nga ye minisita w'ebyenjigiriza n'emizannyo Janet Kataha Museveni asabye ababuulizi b'enjiri okubuulira nga enjiri ey'emisingi egiyamba abantu okwekulakulanya.
Mu misingi egyo mwe muli okubeera abakozi , abayonjo , abantu balamu n’ebirala . Okwogera bino Mukyala Museveni abadde akyaddeko mu Trumpet camp ku kanisa ya Prayer Mountain e Seguku .
Mukyala Museveni yeebazizza omusumba John Mulinde olw’omulimu omulungi gwakoze eri eggwanga nga ayita mu kubuulira enjiri wamu n'okussaawo ekifo abakkiriza webakungaanira okusinza Omutonzi era nategeeza nti omulimu gw’abasumba okusomesa ku bulungi bwa Katonda kiyamba eggwanga okubeera obulungi n'okugenda mu maaso.
Janet Kataha Museveni ng'ali ne bannaddiini
Ategeezezza nti alina ekitabo kye yasoma ekiyitibwa Introduction to the Old Testament Template, ekyawandiikibwa ekyakyusa obulamu bwe , omuwandiisi waakyo Landa Cope bweyagamba nti mu Africa abantu basabira ddala era eddiini balina nyingi naye ate balina okusoomozebwa mu by’enfuna n’embeera endala ez’abulijjo omuli obwavu , obukyafu n'ebirala .
Ategeezezza nti omulimu gw'okubuulira enjiri tegukoma ku kubuulira njiri kyokka era singa ababuulizi b’enjiri bakoma awo ne batasomesa bantu misingi okuli okukola ennyo, okuwa abantu abalala ekitiibwa, obulambulukufu , okulwanisa enguzi , obuyonjo , okulwanisa obwavu n’ebirala kijja kuleka eggwanga lirimu abalokole bangi naye nga baganyuddwa kitono mu ddiini kuba eddiini etambulira wamu n’emisingi egyo .
Ye omusumba John Mulinde owa prayer mountain yeebazizza mukyala Museveni okubakyalirako era namutegeeza nti bbo nga ekkanisa , basobodde okufuna yiika z'ettaka 35 ku kizinga kye Busi nga kuno bakukolerako emirimu egivaamu ensimbi ezinaayamba okutambuza emirimu gye kanisa
No Comment