Nnamukadde agambibwa okusobya ku w'emyaka 11 akwatiddwa n'aggalirwa
Feb 05, 2025
Poliisi e Namisindwa ekutte omukadde ow'emyaka 74 agambibwa okusobya ku mwana ow'emyaka 11.
By Godfrey Kigobero
Journalist @New Vision
Poliisi e Namisindwa ekutte omukadde ow'emyaka 74 agambibwa okusobya ku mwana ow'emyaka 11.
Khalid Makhakasu 74, omulimi nga mutuuze ku kyalo Butinga mu muluka gw'e Kaboole mu ggombolola y'e Bukhoho e Namisindwa, y'akwatiddwa ng'omwana amulumiriza okumufumbiikiriza mu nnyumba ye, n'amusobyako.
Kigambibwa nti omwana babadde bamutumye kukima mazzi ku luzzi, nnamukadde naye kwe kumusaba amuyambe amukimire ku mazzi ng'amusuubizza okumuwa kasooli.
Kigambibwa nti kino, kyaddiridde okumufumbiikiriza mu nnyumba n'amusobyako kwe kukuba enduulu, abatuuze ne bamukwata ne bamukwasa poliisi.
Omwogezi wa poliisi e Mbale Rogers Taitika, agambye nti okunoonyereza kukolebwa
No Comment