Lwaki abaafuna ebisago n’okufiirwa emmaali mu muliro gw’e Kigoogwa balekebwa mu bbanga!

Feb 08, 2025

ABANTU b’e Kigoogwa ekisangibwa mu munisipaali y’e Nansana mu Wakiso, olunaku lwa October 22,2024 bajja kulwawo nga bakyalujjukira, olw’enjega eyagwa mu kitundu kyabwe, ekimotoka ky’amafuta bwe kyagwa ne kikwata omuliro, okukkakkana ng’abantu 31 balusuddemu akaba.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

ABANTU b’e Kigoogwa ekisangibwa mu munisipaali y’e Nansana mu Wakiso, olunaku lwa October 22,2024 bajja kulwawo nga bakyalujjukira, olw’enjega eyagwa mu kitundu kyabwe, ekimotoka ky’amafuta bwe kyagwa ne kikwata omuliro, okukkakkana ng’abantu 31 balusuddemu akaba.
Omuliro guno gwalumya abantu bangi nga nakati abaasimattuka bakyanyiga biwundu. Gwakwata ku ssaawa nga 10:00, ekimotoka ekitambuza amafuta nnamba UAM 292Q, bwe kyalemerera omugoba waakyo ne ne kigwa.
Abamu ku batuuze abaaliwo, baatandika okuleeta ebidomola n’amabaafu okusobola okwesenera ku mafuta ag’obwereere agaali gakulukuta. Gwali mudido gwennyini ng’abantu basena amafuta bwe batwala mu mayumba gaabwe, bwe battulula nga baddayo okunona amalala.
Ekimotoka kyatulika omulundi gumu omuliro ne gusaanikira wonna, ekitundu ne kiwunya evvumbe. Abantu 11 baafiirawo ku ssaawa eyo, ate abalala baafiira mu ddwaaliro e Kiruddu gye baabatwala okufuna obujjanjabi.
Wabula okuva enjega eno bwe yagwaawo, bannannyini bizimbe ebyayonoonebwa, abaali basuubira nti gavumenti enabadduukirira nga bwe yadduukirira abalwadde abaakosebwa n’abaafiirwa abantu baabwe, na buli kati tebanyegangako era ebizimbe byabwe ne bifuuka ebifulukwa.
Ate n’abantu abaafuna ebisago, nabo tebaafuna kujjanjabibwa kutegeerekeka, nga n’okutuusa leero bakyali mu bulumi, abamu beetaaga kulongoosebwa, naye teri abadduukirira.
ABAAFIIRWA EBINTU BYABWE BAKUKKULUMA
Omuliro guno bwe gwakwata, tegwakoma kwokya bantu, wabula gwasaanyaawo n’emmaali y’abasuubuzi abaalina amaduuka mu kifo kino. Emmaali yakwata omuliro n’eggwaawo.
Hassan Walugembe omu ku baafiirwa emmaali n’ebizimbe, ku lwa banne bwe bali mu kulafuubana okulaba nga gavumenti ebaliyirira, yagambye nti batambudde n’obwoya ne bubaggwa ku ntumbwe, kyokka buli ofiisi gye batuukamu bavaayo tebayambiddwa.
Walugembe ne banne okuli Haji Umaru Kateregga ne Harriet Namugenyi bagamba nti baagala gavumenti ebadduukirire kubanga si be baakola obulagajjavu obwavaako omuliro, ate nga baalina amabanja ge baali beewola, nga kati tebalina busobozi bugasasula, kyokka n’emirimu gyabwe gyasaanawo.
Bagamba nti nga gavumenti bwegabira abantu abalala ssente, nabo beetaaga okudduukirirwa baddemu bakole.
“Nze nalina bizinensi 4 mu kifo kino nga zonna zaali ku kizimbe kimu ekyakwata omuliro ne kibengeya era saasobola kubaako kye ntaasa,” Walugembe bwe yagambye.
Yayongeddeko nti; Buli we tutuuka batusaba ffayiro y’omusango kyokka Poliisi yalemera fayiro nga bagamba nti tebayinza kuzituwa, naye ate nga buli ofiisi gye tutuukamu batusaba fayiro eno.
Yasabye gavumenti ebadduukirire basobole okweddaabulula, kubanga bangi tebakyalina we basula, tebalina mirimu, nga n’ekyokulya bawamma kiwamme.
ABAAFUNA EBISAGO NABO BAKAABA
Abavubuka abalala abasimattuka okufiira mu muliro guno okuli; Anthony Bogere 24, Ivan Bbosa 25, Wasswa Williams Kibaate 26, Ratib Mumyuuka 18, balaajanidde Gavumenti okubayamba kuba obulumi balina bungi ate nga tebalina ssente.
Abavubuuka bano baagambye nti omuliro okutandika baali wala n’ekimotoka wabula ng’amafuta gakulukutiddeyo eno gye gwabalumba ne gubookya nga waliwo n’eyali ataasa munne kyokka naye omuliro ne gumubakirayo. Bagamba nti abamu tebaafuna ate n’abaaweebwa ssente zaggwaawo nga beetaaga endala kuba tewali mulimu gwe basobola kukola kubanga omusana gubayisa bubi.
Mumyuuka Ratib yagambye nti bazadde baabwe baali babalinamu essuubi ddene okubakolerera naye tewali kye basobola kukola. Nti abasawo baabagamba okunywa ttule y’amagi amabisi nnamba buli lunaku omubiri okusobola okuddawo amangu n’okunywa amata kyokka bagamba nti tebalina ssente. Basaba gavumenti ebayambe basobole okutereera obulungi.
OMUBAKA WAKAYIMA AYOGEDDE
Omubaka wa munisipaali y’eNansana, Wakayima Musoke yagambye nti abantu abaakosebwa bakyalina obulumi obw’amaanyi olw’okuba nga tebannasasulwa nsimbi zaabwe ezaayonooneka era nti nga abakulembeze bagenda kuteeka be kikwatako ku nninga okulaba nga waakiri abantu naddala abaafiirwa ebintu byabwe babaako ne kye bafuna nga bwe bakola ku baasimattuka n’ebisango 

Poliisi etangaazizza 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirano Patrick Onyango yagambye nti poliisi yakola ekisoboka okulaba nga ezuula ani nnannyini mmotoka y’amafuta eyavaako omuliro, omwafiira abantu, era baasindika n’ebigikwatako mu URA ebabuulire nnannyini mmotoka, kyokka bwe baamunoonya baasanga yagwa eddalu nga tebasobola kumuleeta mu kkooti ate nga yandibadde musaale mu kuliyirira abantu abamu abaafiirwa ebintu byabwe.
Yannyonnyodde nti baakizuula oluvanyuma ng’omusajja ono emotoka yali yagitunda kyokka olw’omutwe okuba omulwadde nga takyasobola kubabuulira ani gwe yaguza emmotoka eno, nga mu kiseera kino gwe bakyanoonya.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});