Gavumenti ezimbidde ab’e Makoko essomero lya siniya

Feb 17, 2025

ABATUUZE mu ggombolola y’e Makokoto mu disitulikiti y’e Kassanda basanyufu, oluvannyuma lwa gavumenti okubawa essomero lya siniya ery’omulembe, nga lye lisookedde ddala mu kitundu kino.

NewVision Reporter
@NewVision

ABATUUZE mu ggombolola y’e Makokoto mu disitulikiti y’e Kassanda basanyufu, oluvannyuma lwa gavumenti okubawa essomero lya siniya ery’omulembe, nga lye lisookedde ddala mu kitundu kino.

Makokoto Seed SS lirina ebibiina eby’omulembe, ebifo awasomesezebwa kompyuta n’ebya ssaayansi, ebisaawe, kaabuyonjo n’ennyumba z’abasomesa.

Bwe yabadde alambuza abatuuze essomero lino, ssentebe wa disitulikiti y’e Kassanda, Kasirye Zimula yabakuutidde okukozesa obulungi essomero nga batwalayo abaana basome. “Guno omulembe gwa kusoma era kiba kibi nnyo omwana wo obutasoma. Kati gavumenti ekoze ogwayo n’eteekawo amasomero, ggwe omuzadde twala abaana basome,” bwe yagambye.

Abatuuze abaakulembeddwaamu ssentebe w’eggombolola eno, Eri Atulinda baasiimye gavumenti olwokubawa essomero ne basuubiza nti bagenda kulirabirira n’okutwalayo abaana basome

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});