Abayeekera b'e Congo bakaaye

Feb 18, 2025

PULEZIDENTI wa DR Congo eyabadde e Girimaani mu lukiiko lw’ebyokwerinda, bwe baawummuddemu n’afuna akadde akanyumyaamu ne mukyala we gye yamuweeredde n’ebimuli bya valentayini.

NewVision Reporter
@NewVision

PULEZIDENTI wa DR Congo eyabadde e Girimaani mu lukiiko lw’ebyokwerinda, bwe baawummuddemu n’afuna akadde akanyumyaamu ne mukyala we gye yamuweeredde n’ebimuli bya valentayini.

Mu kiseera kitono we baamukubiridde akaama nti abayeekera ba M23 bawambye ekibuga Bukavu ekikwata ekyokubiri mu bunene mu Buvanjuba kye baagasse ku kya Goma ekisinga obunene mu kitunda kya DR Congo ekyo.

 

Pulezidenti Felix Tshisekedi baasoose kumugumya ng’agenda mu kibuga Munich mu Girimaani mu lukiiko lwa Munich Security Conference (MSC), okuteesa ku kukomya olutalo lwa Ukraine nti, abayeekera baawambye ekisaawe ky’ennyonyi ekya Kavumu ku njegooyego za Bukavu, kyokka ne bamukakasa nti, awo we bagenda okubattira bakome.

Yagenze mugumu ate amawulire g’okuwamba Bukavu we gajjidde ne bimusobera. Ku Lwomukaaga, amawulire olwamugudde mu matu nti n’ekibuga kiri mu mikono gy’abayeekera b’alumiriza okuwagirwa amagye ga Rwanda, obugenyi bwe n’abusalako. 

Awaka yazzeeyo kipayoppayo ng’ebintu bikaaye kuba ate n’amagye g’eggwanga lye agaabadde gayambibwako aga Burundi, emmundu yabadde egakeese. Sitoowa z’emmundu ezimu baazirese bazookezza abayeekera baleke kuzezza. 

Olukiiko lwa MSC, Tshisekedi gye yabadde, lwabadde lwa nsi yonna ng’amawanga naddala ag’Abazungu baateesezza ku nsonga z’okukomya entalo naddala olwa Ukraine.

Wadde M23 etawaanya DR Congo teyateeseddwaako, ensonda zigamba nti, Tshisekedi yasisinkanye n’omuwaabi wa kkooti y’ensi yonna eya International Criminal Court (ICC) ayitibwa Karim Khan eyasabye okunoonya obujulizi obuluma Rwanda ku by’okuwagira M23, olwo bagikoleko.

Pulezidenti wa Rwanda, Paul Kagame amaze ebbanga ng’agamba nti ensonga za M23 za DR Congo kuba n’abayeekera abo Bacongo, Rwanda tebalinaako kakwate n’ebyokubawagira tebimanyi. Congo egamba nti Rwanda erinayo amagye agabalirirwa mu 4,000 agawagira M23. 

Obumu ku bujulizi bwe bawa z’emmundu ennene ze bakozesa nga bagamba nti ezo si za bayeekera bokka n’obukodyo bwe bakozesa nga basumuludde emmundu,
bulimu obukugu obw’amaanyi obulabika nga obw’eggwanga ery’omuliraano ne Congo (Rwanda).

Amawulire ga BBC gagamba nti, Tshisekedi yalabudde nti olutalo oluli mu ggwanga lye lusobola okusaasaanira amawanga g’obuvanjuba n’obugwanjuba bwa Congo kwe kusaba wabeewo ekikolebwa mu bwangu.

Pulezidenti wa Burundi, Evariste Ndayishimiye ye yasobeddwa n’ategeeza amagye ge bwe gatagenda kuwoolera ku kyabaddewo mu Bukavu n’ebizze bibaawo.

Amagye ge n’aga South Africa ge gamu ku gaabadde mu kibuga ekyo okukitaasa nga gakkirizibwa ekibiina ky’amawanga amagatte ekya United Nations okukola omulimu ogwo.

Bukavu kirimu abantu akakadde kamu mu emitwalo 30, ekiddirira Goma mu bunene mu ssaza ly’e Kivu.

Kyokka omukutu gwa ‘The Guardian’ ogw’e Bungereza gwalaze abayeekera nga bezza buli ofiisi enkulu mu kibuga kino omwabadde n’eya Gavana w’essaza eryo naye eyabuzeewo awone ekibabu.

Omwogezi wa M23, Lawrence Kanyuka yayise ku mukutu gwa X n’asuubiza abatuuze b’e Bukavu okubawa obukuumi n’obukulembeze bwe beetaaga ekyasanyusizza abatuuze ne bawagira abayeekera abaabadde bayisa ebivvulu nga baweese emmundu ennene zi kaganga.

Bukavu ne Goma bye bimu ku bitundu ebisingamu ebyobugagga eby'omu ttaka mu Congo nga kigambibwa nti y’emu ku nsonga lwaki entalo teziggwaayo. M23 bazze balwana ne DR Congo okuva 2012. Bazze bakola endagaano ng’emmundu bw’esirika n’eddamu. Eno etokota yaddamu mu 2022.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});