Bannakyewa bawakanyizza obuwaayiro mu bbago ly'obuifumbo
Feb 18, 2025
BANNAKYEWA abalwanirira eddembe ly’obwannanyini ku ttaka (Land Rights Defenders under the Stand for her land campaign) basabye palamenti okugaana akawayiro mu bbago eritunnulidde okulungamya obufumbo akalagira abafumbo okugabana okusasulanga amabanja agaba gabanjibwa omu ku bbo.

NewVision Reporter
@NewVision
BANNAKYEWA abalwanirira eddembe ly’obwannanyini ku ttaka (Land Rights Defenders under the Stand for her land campaign) basabye palamenti okugaana akawayiro mu bbago eritunnulidde okulungamya obufumbo akalagira abafumbo okugabana okusasulanga amabanja agaba gabanjibwa omu ku bbo.
Nga bakulembeddwamu Mwebe Kalibala okuva mu Stand 4 her Land, bwebabadde balabiseeko eri ababaka ku kakiiko k’ebyamateeka okuwa endowooza ku bbago lino eryaletebwa omubaka omukyala ow’e Tororo – Sarah Opendi eyasaba palamenti nti ensonga z’okusasulanga amabanja zigonjolwe abafumbo singa eyewoola aba yategeezza ku munne awo olwo aba asobola okumuyambako okulisasula.
Ebbago lino erya Marriage Bill 2024, litunnulidde okulaba nga abo abasaba ebirabo byebabeera bawaddeyo nga bawasa, ne babisaba mukwawukana basibwe emyaka esatu (3) oba okusasula omutemwa gwa bukadde 10.
Opendi era mu bbago ayagala wabeewo okugabaanira ebintu wakati singa abafumbo babeera bawukanye.
Okwawukana n’endoowoza za Opendi, Kalibala agambye nti eky’abafumbo okugabana ebbanja ziriko akabuuza kangi kubanga waliwo abewoola nga omulala tamanyi ate ne babateeka ku ndagaano nga ne byagenda okukozesa ssente munne bibeera tebimuyamba.
Kalibala era ayagala wabeewo etteeka nga omuntu okufuna ebintu nga obufumbo buweddewo, businziira kw’ebyo byabeera ataddewo.
Ono era agamba obudde buno waliwo abakyala abasinga abaami obugagga mu kadde kano, nga eteeka lino nalyo lisaanye okutunnulira ku by’omugagga bye butya bwebigabanywa so si
No Comment