Bp. Kakooza ne Ssekamaanya bajaguza Ssande eno
Feb 22, 2025
ESSAZA ly’e Lugazi enkya ku Ssande lw lijaguza emyaka 28 era ku mukolo ogwo Abasumba ababiri: Mathias Ssekamaanya ne Christopher Kakooza nabobagenda kujaguza emyaka gye bamaze mu kuweereza.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
ESSAZA ly’e Lugazi enkya ku Ssande lw lijaguza emyaka 28 era ku mukolo ogwo Abasumba ababiri: Mathias Ssekamaanya ne Christopher Kakooza nabo
bagenda kujaguza emyaka gye bamaze mu kuweereza.
Enteekateeka z’okukuza olunaku lw’Essaza zigenda mu maaso nga bataddewo Weema ennene ennyo wabweru wa Klezia bulijjo awasimbwa ebidduka nga kati
emikolo we gigenda okubeera egy’okukulemberwa Mmisa emu eneesomwa ku lunaku
olwo.
Rev. Fr. Ignatius Kibowa, bwanamukulu w’ekifo agambye nti, basuubira abantu
bangi okuva mu Gavumenti eya wakati, Mmengo n’abakulembeze b’enzikiriza
endala, y’ensonga lwaki baasazeewo emikolo gibeere wabweru wa Klezia okusobozesa
abantu bonna okulaba obulungi ebinaaba bigenda mu maaso. Yagambye nti, Omusumba w’Essaza ly’e Lugazi eyasooka, Bp. Mathias Sekamaany lw’agenda okujaguza emyaka 60 egy’obuweereza nga ku gino emyaka 40 abadde musumba Ayongeddeko nti, ye Omusumba Kakooza naye yasalawo kujaguza ku lunaku lwe lumu emyaka 40 egy’obuweereza nga 25 agiwezezza ng’Omusumba nga okugatta abajaguza ababiri
ku mukolo gwe gumu kifuul lunaku n’omukolo okuba ogw’amaanyi.
Essaza ly’e Lugazi lyasalibwa ku ly’e Kampala mu 1997, Paap John Paul II n’alonda Ssekamaanya okulikulembera n’akola bulungi nnyo okutuusa lwe
yatandika okunafuwa mu mubiri n’asaba okuwummula. Paapa Francis yalonda Bp.
Kakooza nga November 4, 2014 okubeera Omusumba w’Essaza ly’e Lugazi n’atuuzibwa nga January 3, 2015.
No Comment