Paapa w'Abasodokisi afundikidde obugenyi bwe mu Uganda n'akubiriza Bannayuganda okubeera obumu
Feb 23, 2025
THEODOROS II nga ye Paapa w'Abasodokisi mu Africa,amaliriza obugenyi obw'ennaku essatu bwabaddeko wano Uganda.

NewVision Reporter
@NewVision
THEODOROS II nga ye Paapa w'Abasodokisi mu Africa,amaliriza obugenyi obw'ennaku essatu bwabaddeko wano Uganda.
Obugenyi buno yabukomekkerereza n'Okulambula Lutikko eyabbulwamu Okuzuukira Okutukuvu okwa Yesu Kristo esangibwa mu Kibuga Jinja mu Busoga,ku Lwokutaano.
Bweyabaadde asimbula,okuyita mu mutaputa Fr. Paul Mutaasa, Paapa Theodoros II asabye abakkiriza bulijjo okunyweza okwagalana,okutabagana n',obumu nga mu kino mwebasobolera okukuza Eklesia ya Kristo.

Abakungu mu Klesia y'Abasodokisi
Paapa Theodoros II era yasabye abakkiriza mu Uganda okusigala nga batambulira wansi w'Obukulembeze bwa Eklesia mu Africa,obuli mu buufu bw'Omutukuvu Naliko,bwakulembera ng'asinzira mu kibuga Alexandria e Misiri.
Paapa Theodoros II yatuuka mu ggwanga ku Lwokubiri lwa wiiki eno nga February 18,omwaka guno era Atuuse mu bitundu bya Uganda okubadde Lwemiyaga mu Ssembabule, Acholi-Nyek-Omoro e Gulu gyeyatukuza Eklesia, ate ne Jinja.
Bp Silvester Kisitu atwala Eklesia mu Bulabirizi bwe Jinja n'obuvanjuba bwa Uganda yalambululidde Paapa emirimu egy'enjawulo egikolebwa mu kifo kino okuli okuzimba ekizimbe gaggadde,okugaziya Lutikko era n'amusaba asabire abakkiriza bonna babeere n'obusobozi obutuukiriza obuvunanyizibwa buno.
Abakkiriza n'abakulembeze mu kitundu ky'e Jinja boogedde ku bugenyi bwa Paapa era ne bamwebaza okujja okubalambula n'abalekera emikisa,egigenda okubatambuza mu bulamu.

Abasodokisi nga bali ne Paapa waabwe
Omukolo gwetabiddwako Omubaka w'ekitundu kino Jinja West mu Palamenti,Dr. Timothy Watuwa, Bannabyabufuzi abalala okuli David Kyalenga, Abakungu okuva mu bibiina ebigatta enzikkiriza mu ggwanga
Mu kumusiibula e Jinja ne ku Kisaawe e Ntebe,Paapa eyajja ne Ssabasumba George Vladimir,Omuwandiisi we, yasiibuddwa Ssabasumba Jeronymos Muzeeyi,Bp Nectarios Kabuye owe Gulu,era bano baamuwerekeddeko e Juba, South Sudan gyagenda okumala ennaku ssatu.
Bano e Kuba baayanirizibwa BP Constantine Mbonabingi naye Munnayuganda atwala Eklesia mu kitundu kino.
Related Articles
No Comment