Poliisi yeekebejja kkamera ku kizimbe okwafiiridde omuzannyi wa Vipers
Feb 27, 2025
OKUNOONYEREZA ku kufa kw’omuzannyi wa Vipers, Omunigeria Abubaker Lawal kulinnye enkandaggo nga kati poliisi yeekebejja butambi obwenjawulo ku kizimbe kya Voice Mall e Bwebajja kw'agambibwa okufiira.

NewVision Reporter
@NewVision
OKUNOONYEREZA ku kufa kw’omuzannyi wa Vipers, Omunigeria Abubaker Lawal kulinnye enkandaggo nga kati poliisi yeekebejja butambi obwenjawulo ku kizimbe kya Voice Mall e Bwebajja kw'agambibwa okufiira.
Amyuka omwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye
nti balina okusooka okwekebejja obutambi bwa kkamera ku kizimbe n'ebifo ebikyetoolodde bazuule bulungi ekyasse Lawal.
Yagasseeko nti omukazi Naima Omary, enzaalwa y'e Tanzania eyakwatiddwa
ku by’okufa kwa Lawal yakoze sitatimenti egenda okuyamba ennyo
mu kuzuula enfa y'omugenzi. Lawal yafudde ku Mmande nga Naima ategeeza ntim yamuleka mu kasenge ku mwaliiro ogwokusatu kukizimbe kya Voice Mall
e Bwebajja ne bamuyita oluvannyuma ng'agudde wansi.
Ensonda zaategeezezza nti Naima ne Lawal baludde nga ba mukwano.
Naima nti yasomera ku St. Mary's Kitende ku bbasale ya basketball era ate nga
yazannyirako mu lligi y’e Tanzania ne Rwanda. Lawal okujja mu Vipers,
yava mu AS Kigali ey'e Rwanda gye bagambibwa okumanyiganira omukwano
ne gweyongerera okuggumirira e Kitende.
Ensonda zongerako nti Naima muganzi nnyo e Kitende nga kumpi buli ttiimu y'essomero eya basketball lw'ezannya abaawo n'abazannyi b'e Kitende bakuba naye olwali. bamusabira leero Leero, Vipers etegese okusaba (Dduwa) ku kisaawe
kyayo (St. Mary's Stadium) e Kitende ku ssaawa 10:00 ez'akawungeezi. Ekirango Vipers kye yatadde ku mukutu gwayo ogwa X (eyali Twitter),
kyakoowodde bannabyamizannyo okugenda mu kusaba kuno ne kyongerako nti mwe basuubira okulambululira enteekateeka z’okuziika.
GAVUMENTI Y’E NIGERIA EBIYINGIDDEMU
Kapiteeni wa Super Eagles (ttiimu y'eggwanga eya Nigeria), Ahmed Musa yasabye
Gavumenti yaabwe n’abakulira omupiira mu ggwanga eryo okuyingir u kufa kwa Lawal
nti kuba enfa ye eriko ebibuuzo. “Engeri gye baabiseemu Lawal ebuzaabuza era weetaagawo okunoonyereza okw’amaanyi tutegeere ekituufu. Omuntu okumubika nti yafudde ebintu eby’enjawulo wabaawo akabuuza. Nsaba okunoonyereza kukolebwe tufune obwenkanya,” Musa bwe yategeezezza ng’ayita ku mukute gwe ogwa X.
No Comment