Pulezidenti wa Fathers Union Wilber Grace Naigambi awummudde emirimu oluvannyuma lw'emyaka 34 ng'asomesa e Makerere
Mar 03, 2025
ABANTU ab’enjawulo bavuddeyo ne batendereza emirimu gya Pulezidenti wa Fathers Union Wilber Grace Naigambi, ng’ono yawummudde egy’okusomesa okubala ku Yunivasite e Makerere gy’abadde okumala emyaka 34.

NewVision Reporter
@NewVision
ABANTU ab’enjawulo bavuddeyo ne batendereza emirimu gya Pulezidenti wa Fathers Union Wilber Grace Naigambi, ng’ono yawummudde egy’okusomesa okubala ku Yunivasite e Makerere gy’abadde okumala emyaka 34.
Mu kwebaza kino, yategese okusaba ku kkanisa ya St. Apollo Kivebulaya e Namasuba okwakulembeddwamu omulabirizi w’e Namirembe Rev. Moses Banja eyamwogeddeko ng’omuntu omwesimbu mu by’akola.
Rev. Banja yategeezezza nti Naigambi muntu akwata obudde, afaayo eri abalala ate omusomesa omubazi nakinku era omuzadde atya katonda n’okwagala abaana nga wano we yasinzidde n’akuutira abaana okutwala omukululo gwa kitaabwe.
Naigambi newankubadde abadde musomesa naye kino tekyamuggyaako kuweereza kkanisa era muno mwe yaweebwa ekitiibwa ky’okukulira abasajja abafumbo mu bulabirizi bw’e Namirembe ky’akola obulungi. Banja bwe yategeezezza.
Amyuka Cansala wa Makerere Barnabas Nawangwe yatenderezza omujaguza nti avudde ku Yunivasite nga talina bbala lyonna okugeza teyenyigiddeko mu kwekalakaasa kw’abasomesa kwonna ate ng’emirimu abadde agikola buteebalira.
Nawangwe yagambye nti ono yabayamba okulwanirira ssente z’okunnyukirako era nga yomu ku baatwala Yunivasite mu kkooti okulwanirira kino era ne kikolebwa ekigasizza abasomesa bonna.
Yamwogeddeko ng’omukozi abadde taleekaana ng’abalala kyokka ng’emirimu agikola kinnawadda era n’agamba nti baakusigala nga bamwebuuzaako ng’omusomesa omukugu mu by’okubala.
Naigambi mu kweyogerako yategeezezza nti, talina kko lyonna ly’alesse ku Yunivaasite era teri kakiiko ka mpisa konna k’agenzeemu ku by’okwebuzaabuza okukola emirimu.
Yagambye nti newankubadde yatandika akolera mu kaseera akazibu ng’okusasulwa ebinusu, naye yalemerako era n’akubiriza abavubuka okwagala emirimu gyabwe wamu n’okubeera ab’esimbu singa baakuwangaalira gye bakolera.
Yeebazizza ffamire ye abamubeereddewo mu byonna okutuusa w’annyukidde ogw’obusomesa n’asaba abaana nabo okusoma singa baakuwangula ensi ejjuddemu ebisomooza.
Omukolo gwetabiddwako abasomesa okuva e Makerere okwabadde n’eyali Cansala Livingstone Luboobi, oluvannyuma lw’okusaba baagenze ku ekijjulo mu maka ge e Namasuba era ne bagaba ebirabo eby’enjawulo okumuyozayoza.
No Comment