Ekisiibo ky'Abasodokisi kitandise

Mar 04, 2025

EKISIIBO ky’Abasodokisi kitandise abakkiriza ne bakubirizibwa okutambulira ku nnambika y’Eklesia mu kiseera kino wakati mu kuteekawo enkolagana ennungi n’omutonzi waabwe.

NewVision Reporter
@NewVision

EKISIIBO ky’Abasodokisi kitandise abakkiriza ne bakubirizibwa okutambulira ku nnambika y’Eklesia mu kiseera kino wakati mu kuteekawo enkolagana ennungi n’omutonzi waabwe.

Bp Silvester Kisitu Omusumba w'Eklesia atwala ekitundu ky'e Jinja n'obuvanjuba bwa Uganda mu bubaka bwe ategezezza ng’okusiiba bwekuyamba abantu okwekomako mu bintu eby’enjawulo byebeemanyiiza mu bulamu.

“Abavubuka bangi abatambulira mu bukaba,ekiseera kituuka nga bwatabeera mu bukaba,awulira ng’obulamu tebuliiwo. Sitaani abatuusa n’okubalowoozesa nebagamba nti Katonda talina mutawaana ku kino,Katonda mba mukozeeki,katwekyakalire,”Bp Kisitu bwagambye.

Ayongedde n’agamba nti ekisiibo kiyamba okweteeka mu layini yeebyo Katonda byayagala,ebyo byatayagala nga tugamba nti nedda,tweteekeko ekkomo,okutambulira

“Mukama atuyambe okusiiba kwaffe nga tukugaseemu obuwulize eri Eklesia byetugamba,tulyooke tutambulire mu bulamu Katonda bwayagala,mu bulamu Katonda bwajja okutuweeramu emikisa,tuyingire nga twewala ebikolwa eby’obubi,” Bp Kisitu bwasabye.

Olunaku lw'okutandika okusiiba lukulemberwa olwa Ssande oluyitibwa ey'okusonyiwagana na buli omu akuwe ekisonyiwo kweebyo byoyinza okuba nga wamukola mu bugendereevu n’obutali bugendereevu.

Rev. Fr. John Kibuuka Bossa Viika w'Eklesia agamba nti ekisiibo kino kyekitutuusa ku kujjaguza amazuukira ga Yesu ng’oluvanyuma lw’okutandika March 3, 2025,kyakukomekkerezebwa nga April 20,2025 n’okujjaguza embaga y’amazuukira.

“Baana ba Katonda nga musiiba musaanye okulaba nga buli kitundu kya mubiri nga kisiiba; eriiso,omumwa,amatu n’ebirala kubanga essira teriteekebwa ku byakulya byokka nga tusiiba,” Fr. Kibuuka bweyayogedde.

Ku Lutikko e Namungoona olwaleero, Ddiini waayo, Fr.Dr. Nicholas Bayego akulembeddemu okusaba n’akubirizza abakkiriza okuwaayo okwagala kwaabwe,obulamu,essuubi ly’obulokozi bwaabwe ate n’okwerumya olw’okulongoosa obulamu bwaabwe mu maaso ga Katonda

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});