Bakoze olukwe okutta Donald Trump

WASHINGTON, America OLUKWE lw’okutta Trump mwe bamuyungulidde ennyonyi bbiri n’omukubi wa ssabbaawa, lugudde butaka ng’omu akubiddwa amasasi.

Trump
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

WASHINGTON, America OLUKWE lw’okutta Trump mwe bamuyungulidde ennyonyi bbiri n’omukubi wa ssabbaawa, lugudde butaka ng’omu akubiddwa amasasi. Kaabadde kaseera kazibu ku wiikendi ng’abakuumi ba Pulezidenti wa America, Donald Trump
battunka n’abantu abaabadde ng’abayunguddwa okumulumba ne bubeefuka. Olukwe olwasoose lwabaddewo ku Ssande ku makya, okusinziira ku mawulire ga BBC. Omusajja ataategeerekese eyabadde abagalidde emmundu, yalumbye maka g’Obwapulezidenti aga White House mu kibuga Washington DC gye yaliiridde amatereke n’abakuumi ba Secret Service abakuuma Trump, abaabadde obulindaala.
Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa eggye lya Secret Service kyalaze nti, omusajja ono yabadde yeefudde agenze okulambula, yayise ebweru w’ekikomera ng’abantu
abalala bwe bakola nga bakuba ebifaananyi amaka ga Pulezidenti waabwe kyokka entambula ye, yabadde ya njawulo ku y’abalala. Yasanze n’abakuumi b’amaka ago baafunye dda okubagulizibwako poliisi y’ekitundu nti, waliwo omuntu atategeerekeka bulungi alabika ng’ate alina n’emmundu, atambula ayolekedde amaka ga
White House.
Nga bamwekengedde nti yeye, baamusabye ayimirire n’agaana, ne bamugamba okuwanika emi ono nakyo n’akigaana. Ekyaddiridde kuggyayo mmundu awo ’abaabadde bamuwa ebiragiro ne baggyayo ezaabwe ne zidda okunywa. Be  baamwesoose ne bagatulisa naye n’abaddiza n’olaba firimu ku makya nga n’abaabadde
bagenda okusoma ku Ssande batandise okukyusa mmotoka ne badda gye bava olw’obutamanya kigenda mu maaso.Yakubiddwa amasasi n’atuul  ttaka ne bamuyoola. Yatwaliddwa mu ddwaaliro nga biwalattaka ensonga ab’ekitongole ekikuumaPulezidenti n e bazikwasa poliisi ya Washington Metropolitan Police
ezinoonyerezaako.
Trump yasangiddwa mu White House taliimu ng’ali mu maka ge ag’obwannannyini aga Mara- Lago mu ssaza ly’e Florida ng’azannya ne bagagga bannen golf.
AB’ENNYONYI NABO BAAMULUMBYE MU MAKA E FLORIDA GYE YABADDE
Amawulire ga America aga CBS news gagamba nti, abantu abatannategeerekeka baabadde ng’abaateze ebiri kubanga bwe byagaanyi mu Washington ne bamulumba e Florida mu maka ge ag’obwannannyini. Eyo zaabadde nnyonyi bbiri ezaategeerekese oluvannyuma nti zaabadde za basaabaze nga zoolekedde amaka ge gye yabadde.
Amaka ago baagateekako envumbo nga tewali nnyonyi yonna rina kuyita okumpi nago.
Tewali nnyonyi ekkirizibwa kuyita mu buwanvu bwago mayiro 0 okuva we gali. Bwe kibeera kibuga Kampala, zirina kuyita eyo nga Mpigi. Ennyonyi zino zaalabiddwa ebyuma bya Radar ebiketta ennyonyi mu bwengula ne biziraba.
Baayogedde n’abagoba baazo nga bakozesa air traffic control adio ezirina kye bayita Very High-Frequency (VHF). Zino zibeera nga leediyo koolo radio call) z’abaserikale kyokka zino z’amaanyi ddala ezikozesebwa okuwuliziganya abagoba b’ennyonyi eziri mu bwengula.
Abaabadde mu nnyonyi ezaabadde zoolekedde amaka ga Trump bwe baabalabudde nti gye boolekedde tewakkirizibwa, tebaawulirizza ne bongera kugenda u maaso.
Awo aba Secret Service tebaatawaanye, baayimbudde ennyonyi nnwanyi ez’amaanyi ekika kya F-16 ne zirumba ezaabadde ziremeddeko zizikoleko we zaabadde ng’ezizituukako, ennwaanyi zaazitulisirizza ebiriroliro mu maaso ng’akabonero
okulaga abaabadde beefudde banantagambwako nti, bwe bagaana okudda gye bava, bagenda kukubwa.
Ebiriroliro ebyabadde bikubwaennyonyi za F-16 byabadde bisusse okwakira ezaabadde  irabulwa nga bw’olaba ‘fire works’ eziriko n’obumansuka. Mizayiro ezaabadde ziziwangiddwaak  mu bungi, nazo zaabadde zijagaladde abagoba b’ennyonyi ziri ne bamanya nti kaweddemu.
Ekyewuunyisa, wadde abagoba  b’ennyonyi ziri baabadde bakakasizza nti embeera eriwo etiisa, bagaanye okudda gye bava kyawalirizza ennyonyi ennwanyi
okubuuka nga zigenda zibeekiika mu maaso okubalemesa. Kino zaakikoze zigenda zizisala mu maaso nga bwe zeebongera mu bwengula nga bwe zikola mu lutalo ekyawalirizza ezaabadde zoolekedde amaka ga Trump okudda gye zaabadde ziva embeera n’edda mu nteeko. Oluvannyuma ab’ekitongole ya North American Aerospace
Defense Command ekivunaanyizibwa ku by’okukuum obw’engula bwa America bwafulumizza ekiwandiiko ekinnyonnyola kalonda yenna eyabaddewo.
Kyalaze nti olutalo lw’ennyonyi okubaawo, Trump yabadde mu kisaawe kye ekya West Palm Beach golf course mu maka ge nga yaakamalamu akagoba akasooka.
AB’EMMUNDU ABAZZE BEEGEZA MU TRUMP
Trump ng’akyali mu kalulu omwak  oguwedde, abantu babiri
ab’emmundu baamwegezaamu okumutuusaako obulabe. Omu ayitibwa Thomas Matthew Crooks, yapima Trump bwe yali mu lukiiko asaba kalulu mu ssaza
ly’e Pennsylvania n’amukuba amasasi erimu ne limukomba ku kutu. Omulala yakwatibwa n’emmundu okumpi n’amaka e gamu e Florida ennyonyi gye
zaabadde zirumbye.
Okuva lwe yatuula mu ntebe mu January w’omwaka guno, Trump ayisizza amateeka mangi agasanyusizza abantu n’okunyiiza
abalala bangi.