NRM egenda mu kkooti ku byalangiriddwa akakiiko k’ebyokulonda e Kawempe

Mar 15, 2025

EKIBIINA kya NRM kiwakanyizza ebyavudde mu kulonda kw’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North mu Palamenti, era ne kiragira balooya baakyo okuteekayo omusango mu kkooti nga bawakanya ebyalangiriddwa akakiiko k’ebyokulonda.

NewVision Reporter
@NewVision

EKIBIINA kya NRM kiwakanyizza ebyavudde mu kulonda kw’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North mu Palamenti, era ne kiragira balooya baakyo okuteekayo omusango mu kkooti nga bawakanya ebyalangiriddwa akakiiko k’ebyokulonda.

Okusinziira ku byavudde mu kalulu kano, munna NUP Erias Luyimbaazi Nalukoola ye yawangudde, n’obululu 17,764, n’addirirwa Faridah Nambi owa NRM n’obululu 8,593.

Nalukoola eyawangudde akalulu.

Nalukoola eyawangudde akalulu.

Aba NRM nga bayita mu kakiiko k’ekibiina ak’oku ntikko aka Central Executive Committee (CEC) mu lukiiko lwe batuddemu eggulo ku Lwokutaano nga March 14,2025, baasazeewo okuwakanya akalulu kano, nga bagamba nti oludda oluvuganya lwakoze effujjo ne lusukka, ne kiremesa aba NRM okulonda obulungi.

Richard Todwong Bw'afaanana.

Richard Todwong Bw'afaanana.

Okusinziira ku Ssaabawandiisi wa NRM, Richard Todwong, baakizudde nti mu bifo ebironderwamu ebimu waabaddeyo okutiisatiisa abalonzi, okubba obululu, n’effujjo erya buli kika, naye nga likolebwa abawagizi ba NUP ne FDC.

Era Todwong agamba nti n’akakiiko k’ebyokulonda kaalemesezza abalonzi 50,000 okweyagalira mu ddembe lyabwe eryokwesalirawo omukulembeze gwe kaagala, bwe kaasazizzaamu ebyavudde mu kulonda mu bifo ebironderwamu ebiwera 15, nga keekwasa nti waabaddeyo emivuyo.

Nambi owa NRM omu ku baabadde bavuganya.

Nambi owa NRM omu ku baabadde bavuganya.

Kati NRM eyagala gavumenti ekole okunoonyereza okw’ekikugu ku ngeri akalulu kano gye kaatambuddemu, n’ebitongole by’amateeka okunoonyereza n’okuvunaana abo abeenyigidde mu ffujjo, nga balooya bwe batwala omusango mu kkooti.

Todwong yakisimbyeko amannyo, nti okulonda kuno tekwabadde kwa mazima na bwenkanya era demokulaasiya w’eggwanga ali mu katyabaga, ssinga tewabaawo kikolebwa ku mbeera efaanana bw’eti.

Akalulu k’e Kawempe kaabaddemu abavuganya 10, Nalukoola be yamezze okusinziira ku kakiiko k’ebyokulonda.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});