Kitalo! Ab'omuliraano 6 bafiiridde mu kabenje nga bava okuziikirako muliraanwa waabwe

Mar 17, 2025

EKYALO Kitebi ekisangibwa mu muluka gw’e Mutundwe, mu munisipaali y’e Lubaga kibuutikiddwa emiranga, okwaziirana n’ebiwoobe, olw’abatuuze omukaaga okusaanawo mu kabenje nga bava okuziikirako muliraanwa waabwe.

NewVision Reporter
@NewVision

EKYALO Kitebi ekisangibwa mu muluka gw’e Mutundwe, mu munisipaali y’e Lubaga kibuutikiddwa emiranga, okwaziirana n’ebiwoobe, olw’abatuuze omukaaga okusaanawo mu kabenje nga bava okuziikirako muliraanwa waabwe.

Omugenzi Teddy Nakabiri.

Omugenzi Teddy Nakabiri.

Baafiiridde mu disitulikiti y’e Rakai akawungeezi k’Olwomukaaga bwe baabadde bava e Isingiro okuziikirako mutuuze munnaabwe, Thobias Nsubuga eyafiiriddwa nnyina. 

Baabadde basaliikiriza okuyita e Rakai, mmotoka mwe baabadde batambulira eya takisi ekika kya ‘Drone’, ne yeefuula emirundi egiwerako, okukkakkana ng’abamu bafudde okwabadde ne ddereeva ate abalala ne basimattuka n’ebisago eby’amaanyi omwabadde okukutukako emikono n’amagulu.

Omugenzi Dan Kibirige bw'abadde afaanana.

Omugenzi Dan Kibirige bw'abadde afaanana.

Abagenzi baabadde batuuze b’e Kitebi, ng’abasinga Bakristu ku Klezia ya Amansi ne Mapeera. Abaafudde kuliko; Veronica Nakabiri, Ssaabakristu w’akabondo ka St. Anthony, Teddy Ishungisa 62, omumyuka we, Peter Onyango, Hadijah Naiga Musiiri, Dan Kibirige ne bbebi ow’omwaka ogumu ng’ono abazadde be baafunye ebisago eby’amaanyi bali mu ddwaaliro.

Ddereeva Onyango naye yafudde.

Ddereeva Onyango naye yafudde.

Florence Tino nga ye mukyala wa Onyango eyabadde avuga ttakisi eno yategeezezza nti bba baamukubira essimu ku ssaawa 7:00 ez’ekiro ekyakeesa Olwomukaaga nga bamuzuukusa baasimbule okugenda okuziika n’ayagala okugaana ng’agamba teyeewulira maanyi, naye n'agenda. 

Omugenzi Teddy Ishungisha.

Omugenzi Teddy Ishungisha.

Yazzeemu kuwulira nti afiiridde mu kabenje. Ssentebe w’ekyalo Kitebi Henry Kasule agambye nti ekigudde ku kitundu kibatabudde, kuba wonna kati miranga na kwaziirana, n’asaba Katonda agumye abaffamire n’abakyali mu malwaliro abassuuse.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});