Beeyamye okwongera okulwanyisa abasaddaaka abantu n’abasawo b’ekinnansi abafere
Mar 21, 2025
ABASAWO b’ekinnansi abeegattira mu kibiina kyabwe ekya Uganda n’Eddagala Lyayo, bongedde kaweefube mu kulwanyisa ekisaddaaka bantu n’abasawo abafere.
By Vivien Nakitende
Journalist @New Vision
ABASAWO b’ekinnansi abeegattira mu kibiina kyabwe ekya Uganda n’Eddagala Lyayo, bongedde kaweefube mu kulwanyisa ekisaddaaka bantu n’abasawo abafere.
Baabadde mu lukiiko ku kitebe kyabwe e Kasubi ku Munaku, ne bategeeza nti abantu bangi abakozesa omulimu gwabwe, era okunoonyereza kulaga ng’abantu 75 ku buli 100 wano mu ggwanga bakozesa abasawo b’ekinnansi, ate abantu 95 ku buli 100 bawagira obuwangwa n’ennono, ebigwa mu mulimu gwabwe.
Abamu Ku Bakulembeze B’abasawo B’ekinnansi Abeegattira Mu Kibiina Kya Uganda N’eddagala Lyayo Mu Lukuhhaana. Wakati Mu Kkooti Ye Ssaalongo Walyabira Akulira Ekibiina Ekyo.
Ssaalongo Walyabira, Pulezidenti w’ekibiina kya Uganda n’eddagala lyayo yategeezezza nti, bagenda kwongera amaanyi mu kulwanyisa abasawo b’ekinnansi abafere, b’agambye nti beebasinze okuteekawo ebikolwa by’okusaddaaka abantu, kyagambye nti kikyamu.
Mutyaba Muwanga, katikkiro w’ekibiina era ssentebe w’abasawo b’ekinnansi mu disitulikiti y’e Luweero yagambye nti, bagenda kwongera amaanyi mu bikwekweto by’okufuuza abasawo b’ekinnansi abafere okubamalamu kisobole okukendeeza ku bikolwa ebikyamu bye bakola ebittattana erinnya lyabwe.
Mu lukiiko luno banjudde enteekateeka z’okujaguza emyaka 60 bukya kibiina kya Uganda n’eddagala lyayo kitandikibwawo mu 1965, ng’emikolo emikulu gyakubeera mu kisaawe kya disitulikiti y’e Wakiso nga 23/04/2025, nga pulezidneti Museveni y’ayitiddwa okubeera omugenyi omukulu.
Walyabira akoowodde abantu ab’enjawulo abeetaaga okwolesa eby’obuwangwa okujja beewandiise kubanga ebikujjuko byakutandika na mwoleso ogugenda okumala ennaku 3, okuva nga April 21 okutuuka nga 23, 2025.
Ebigenda okwolesebwa mulimu; ebivuga by’ekinnansi, eddagala ly’ekinnansi, ennyimba z’ekinnansi, n’ebirala bagatteko okusimba emiti ginnansangwa ng’emivule. Batadddewo n’olusiisira lw’obujjanjabi bw’ekinnansi okutandika ne April 21.
Omulamwa gw’omwaka guno essira bagenda kulissa ku kulwanyisa ekisaddaaka bantu, okumalawo obufere mu basawo b’ekinnansi, okwekulaakulanya n’okukuuma obutonde bw’ensi kubanga y’ensibuko y’eddagala na buli kimu.
Ku olwo baakusiima Pulezidenti Museveni olw’ebyo byakoze okukuuma ennono n’obuwangwa. Abalala kuliko minisita w’obuwangwa, Peace Mutuuzo, Brig. Christopher Ddamulira akulira ekitongole ekikessi ekya Crime Intelligence, gwe bagambye nti abayambye nnyo okufuuza abasawo b’ekinnansi abafere.
No Comment