Ebitiisa ku njaga etundibwa mu bbaala
Mar 25, 2025
EBIZUUSE ku njaga mu mabbaala ag’ebbeeyi mu Kampala bitiisa! Abagitambuzaokugituusa ku badigize bagiyisa mu bukodyo obwekusifu omuli n’okwefuula abagenzeokudigida.

NewVision Reporter
@NewVision
EBIZUUSE ku njaga mu mabbaala ag’ebbeeyi mu Kampala bitiisa! Abagitambuza
okugituusa ku badigize bagiyisa mu bukodyo obwekusifu omuli n’okwefuula abagenze
okudigida.
Enjaga etundibwa mu mabbaala gano ag'ebbeeyi, ensond igamba, ebeera nnongooseemu
okwawukana ku ya bulijjo emanyiddwa ey’abavubuka ba ghetto. Abatambuza
enjaga eno bakolera akabinja akeekusifu era kigambibwa kalimu n’abaserikale okuva
mu bitongole by'ebyokwerinda eby’enjawulo.
Okunoonyereza okwakoleddwa Bukedde nga kwesigamiziddwa ku nsonda mu byokwerinda, kwazudde ebika by’enjaga eby’enjawulo ebiweebwa abadigize
naddala abawala abanyirira,ag’enjaga balina okwongeramu amaanyi kuba ekituufu weegali naye oluusi abantu bwe bakwatibwa ate bamala ne bateebwa.
Mu ngeri y’emu tulina okulwanyisa obwavu mu bavubuka kuba abatakola be basinga
okufiira mu mbeera eno. Enguzi eyitiridde nayo etukoze bubi kuba abaserikale bwe bagenda mu mabbaala ate mu kifo ky’okukwata ebiragalalagala ebiriyo bwe babawa enguzi omusango bagukomya awo.
Ekirala ekirina okukolebwa, be bazadde okubuulirira abavubuka okuva ku njaga bakikole ate nga bwe babalaga n’obulabe enjaga bw’ereese eri ensi ate n’abo b’esse. Abavubuka bwe banabuulirirwa mu mbeera eno okuviira dala mu masomero, ebiragalalagala bijja kulekera awo okutta abantu baffe naddala abavubuka
abasajja ne babakolako ebyambyone nga yabakubye dda.
Ebika by’enjaga ebisinga okukozesebwa mu bbaala z’e Kampala naddala e Kololo ne Makindye kuliko Heroin (eno bagikuba mu misuwa), Cocaine (eno ya uwunga banuusa nnuuse nga bakozesa akaseke), Methamphetamines emanyiddwa nga ka ice
(eno nayo bagikuba mu misuwa wabula y’emu ku zisinga ebbeeyi n’okuba ey’obulabe).
Ebika ebirala kuliko, ‘pethidine’, ‘entonox’, ‘fentanyl’, ‘morphine’, ecstacy ssaako kachai.
Byonna, ensonda zigamba bikozesebwa mu mabbaala, abadigize abamu bagibawa bakimanyi nti babawa njaga kyokka abamu bagibawa tebategedde. Ann
Ssebunnya, munnamawulire ate ng’alina ekibiina ekirwanyisa ebiragalalagala ekya Drugs Hapana yagambye nti enjaga emu bagiteeka mu mwenge ne bagitabula
olwo ne bagiwa abantu abatamanyi nga balowooza babawa mwenge.
“Abadigize abamu bajja nayo ne bagiyingiza mu bbaala ate dala waliwo bakayungirizi
abagitambuza okugituusa ku badigize naye akabinja kaabwe kakola mu ngeri nneekusifu nnyo kizibu okubategeera n’okuzuula gy’eva,” Ssebunya bwe yagambye.
Ssebunya annyonnyola nti ka ice kafuuse ekizibu kuba n’abaana b’amasomero agali
ku mutendera gw’ensi yonna (international) bagiggya mu mabbaala, nga babalimbye nti ereeta amagezi. “Tugenda mu masomero abaana ne batugamba nti ka ice baakaggye mu bbaala, mumala kubabuulira bulabe bwako ne bazibuka amaaso n’owulira nga bagamba wamma ne munnaffe gundi alabika ke kaamutta,” Ssebunya bwe yategeezezza.
Grace Bikumbi, omusawo mu ddwaaliro e Butabika (Clinical psychologist/Addiction and Mental Health Specialist, yannyonnyoddeti, waliwo ebika by’enjaga
ebirala okuli eya Crack Cocaine ne Crystal Meth ekozesebwa ennyo mu bitundu ne mu bbaala z’e Kabalagala, Kansanga, Najjeera ne Kyaliwajjala, Ebirala yagambye waliwo
enjaga eya bulijjo ey’emisokoto, benzos (makerenda agawonya obulumi naye omuntu
bw’atandika okugakozesa kizibu okugavaako), cocaine syrup, sisha n’ebika ebirala.
ENGERI ENJAGA GY’EKUKUSIBWA OKUYINGIRA EGGWANGA
Ensonda zaategeezezza nti esinga kukusibwa Banaigeria, Abapakistan, Abayindi ssaako Abazungu. Engeri gy’etambuzibwa ensonda zaagambye nti esinga okuyingingizibwa
mu ggwanga bagiyisa ku nsalo nga bagikukusiza mu mmotoka eziyingira mu ggwanga,
sippeeya ne mu bizimbisibwa ebiva ebweru.
“Enjaga esinga wano eva Pakistan, India, Nigeria nay ga nabo tebagirima bagiggya
Colombia, Peru, Bolivia, Mexico n’amawanga amalala mu South America,” Ensonda bwe zaategeezezza.
Waliwo endala eyita ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe nti kyokka ebikwekweto ebizze
bikolebwa n’amaanyi agaatekebwawo poliisi, SFC n’ebitongole ebirala, abagikukusa kati bagenda bakyusa.
ABAKULEMBEZE BAWADDE EBIRINA OKUKOLEBWA
Mmeeya wa Kampala Central, Salim Uhuru agamba: kituufu kiri nti ebiragalalagala
ebyeyongedde mu ggwanga nga bitandikidde ddala okutta abantu naddala abavubuka ng’ebisinga biyingizibwa okuva ebweru.
Mu Uganda temuli bukugu bw’amaanyi bukola biragalalagala nga bye banuusa oba
bye beekuba mu mpiso. Kino kitegeeza nti ebisinga biyingizibwamu
buyingizibwa.
Okumalawo ekizibu kino, tulina okunyweza ensalo zaffe n’amawanga amalala. Twongere amaanyi mu kwaza abantuabayingira eggwanga nga bayitira mu nnyonyi, ku ttaka ne ku mazzi kuba abamu balabika nga bebayingiza enjaga mu ggwanga.
Kyokka nga kino okukolebwa, tulina okussa amaanyi mu kulwanyisa enguzi mu poliisi, ggwe weebuuze ku bukuumi, obuli ku isaawe e Ntebe, omuntu ayinza atya okuyisaawo enjaga nga takwatiddwa?
Oyinza n’okwesanga nga n’abamu ku bakuumi abayaza bantu ku kisaawe babeera mu lukwe.
TUYAMBE EBITONGOLE EBIKOLA KU KULWANYISA EBIRAGALALAGALA
Akulira ababaka ba Palamenti abava mu Buganda, Muhammad Muwanga Kivumbi,
agamba nti; Omulimu gw’okulwanyisa ebiragalalagalaokusinga guvunaanyizibwa
ku baabyakwerinda naddala poliisi kyokka bw’otunuulira ssente ezibaweebwa ntono
nnyo ku bunene bw’omulimu gwe balina okukola.
Ne minisitule y’ebyobulamu erina okwongerwa ssente kuba ekizibu ky’ebiragalalagala kinene mu ggwanga ng’abamu mu kiseera kino beetaaga kujjanjabwa okuva mu bulabe bwe balimu kyokka era ssente eziteekebwa mu by’obujjanjabi tezimala.
Kyokka ng’oggyeeko abafa ebiragalalagala bino mu mabbaala ne tubamanya, waliyo
abalala abafa okuva mu bitundu eby’omugotteko ne batamanyibwa. Kitegeeza nti amaanyi geetaagisa nnyo mu kubirwanyisa.
AMATEEKA AGALIWO BWE GANYWEZEBWA EBIRAGALALAGALA BISOBOLA OKUKOMA OKUTTA ABANTU Omubaka wa Palamenti owa Nakawa East, Ronald Balimwezo Nsubuga, agamba; Abakwasisa amateeka naddala
No Comment