Chairman Toyota asaasidde nnyo abantu abafiiriddwa ebintu byabwe olw'enkuba wabula omusango n'agusalira KCCA
Mar 26, 2025
AKULIRA ekisinde kya PLU, Micheal Nuwagira amanyikiddwa nga Chairman Toyota anenyezza ekitongole kya KCCA okulemererwa okukola obuvunaanyizibwa bwakyo ekiviriddeko amazzi okwanjaala mu bitundu bya Kampala ne miriraano ne gatta abantu wamu n’okwonoona ebintu ebiwera.

NewVision Reporter
@NewVision
AKULIRA ekisinde kya PLU, Micheal Nuwagira amanyikiddwa nga Chairman Toyota anenyezza ekitongole kya KCCA okulemererwa okukola obuvunaanyizibwa bwakyo ekiviriddeko amazzi okwanjaala mu bitundu bya Kampala ne miriraano ne gatta abantu wamu n’okwonoona ebintu ebiwera.
Abantu ng'amazzi gabasazeeko
Nnamutikwa w’enkuba akedde okufudemba mu kiro ekikeesezza olwaleero alase bannakampala n’ebintu ebiriraanyewo bakaaba. Abantu 7 bebateberezebwa okuba nga baafiriddemu nkuba eno okwo saako okwonoona ebiwerako n’abantu abamu okufuna ebisago
Toyota asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire lwatuuzizza ku Speak Apartment mu Kampala n’ategeeza nti amazzi agagoyezza bannakampala leero kivudde ku bunafu bwa kitongole kya KCCA.
Agambye nti KCCA ewa abantu zi pulani z’okuzimba mu bifo bye ntobazi n’awa eky’okulabirako ky’akeedi eri mu kuzimbibwa okumpi ne Forest Mall gy’agambye nti eri mu lutobazi naye KCCA etunulabutunuzi
Emmotoka nga zisaabala amazzi
Ayongeddeko nti nga bannayuganda abalumirirwa eggwanga lyabwe tebasobola kusirika ne batunula ng’ekitongole ekimu kikola emivuyo egivumaganya gavumenti n’okulumya bannansi era n’asaba abakozi mu KCCA nti bweba balaba ng’emirimu gibayinze baveeyo boogere giwebwe abalala.
Agamba nti KCCA yasalawo okumala gakakasa pulani z’abantu abasenga mu ntobazi kyokka ate NEMA bwejja ng’ebamenya ekintu ekikyamu kubanga KCCA ba yinginiya balina obukugu obwawula ekifo ekikyamu ku kituufu naye enguzi ye bonoona.
Aba boda-Boda nga balwanagana ne booda zaabwe
Ono asaasidde abantu bonna abakoseddwa mu nkuba eno okuli abafiriddwako ababwe wamu ne beeyoyonoonedde ebintu byabwe.
Bino webijidde ng’enkuba ekedde okufudemba erese egoyezza abantu mu bitundu bye Kawaala n’esalako n’oluguudo lwa Kawaala-Bwaise road okukkana ng’ebintu by’abantu byonoonese
Related Articles
No Comment