Babbye obukadde 25 mu dduuka lya Mobile Money emisana ttuku
Mar 31, 2025
ABANYAZI ab’emmundu bazinzeeko edduuka lya Mobile Money emisana ttuku ne bassa abalibaddemu ku mudumu gw’emmundu be banyaga obukadde 25 .

NewVision Reporter
@NewVision
ABANYAZI ab’emmundu bazinzeeko edduuka lya Mobile Money emisana ttuku ne bassa abalibaddemu ku mudumu gw’emmundu be banyaga obukadde 25 .
Bino byabaddewo ku Lwomukaaga ku ssaawa 7:00 ez’emisana mu ttawuni y’e Lugazi ku dduuka lya Bubeke General Stores ku kizimbe kya Muzeeyi Mayengo.
Abaabaddewo baategeezezza nti, baasoose kulaba omusajja eyayimiridde okumpi n’omuti gw’omukookoowe ne balowooza nti alina gw’alinda.
Oluvannyuma yatambudde n’ayingira edduuka lya Mobile Money, era amangu abantu babiri ne batuuka nga bali ku bodaboda ng’omu alina emmundu n’ayimirira mu mulyango.
Baalowoozezza nti baliko gwe bazze okukwata wabula baagenze okuwulira awoggana munda mu dduuka ne bagezaako okugenda okulaba ogubadde wabula eyabadde akutte emmundu ng’ali ku mulyango n’agibasongamu ne batya.
Oluvannyuma lw’eddakiika nga ssatu, abanyazi baafulumye ne babuukira boda boda gye baabadde balese ebweru ng’etokota ne beggyawo n’ekisawo kya ssente. Mu babbidwa kwabaddeko eyategeerekese nga Adam Kakande eyabadde atutte ssente 930,000/- ng’aliko gw’aziweereza, ssaako abaabadde baguze essimu okuva mu dduuka
lino bano baagibatutteko.
Poliisi y’e Lugazi eyakulembeddwa agikulira, Hussein Musiho bazze n’amagye
kyokka ng’ababbi badduse dda. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezibwa,
Helen Butoto yakakasizza ensimbi obukadde 25 ezabbiddwa.
No Comment