Ekitongole kya UEDCL kifulumizza emiwendo gy’amasannyalaze emipya

Apr 04, 2025

EKITONGOLE ky’amasannyalaze ekya UEDCL kifulumizza emiwendo emipya, egigenda okusasulwa bakasitoma, nga kiddiridde UMEME okuvaawo gye buvuddeko.

NewVision Reporter
@NewVision

EKITONGOLE ky’amasannyalaze ekya UEDCL kifulumizza emiwendo emipya, egigenda okusasulwa bakasitoma, nga kiddiridde UMEME okuvaawo gye buvuddeko.

Emiwendo gino, gigenda kukola okumala emyezi esatu okutandika n’omwezi guno (April) okutuusa mu June w’omwaka guno. 

 

Omwogezi w’ekitongole kya UEDCL, Jonan Kiiza yagambye nti emiwendo emipya gyamaze okukakasibwa ekitongole ekirung’amya ebitongole by’amasannyalaze ekya Electricity Regulatory Authority (ERA).

Yannyonnyodde nti gigenda kutandika okussibwa mu nkola ku buli bbiiru y’amasannyalaze eneekolebwa okusinziira ku mmita nga bw’eba ebaze eri bakasitoma abali ku nkola ya mmita, nga basooka kwota masannyalaze ne balyoka basasula.

Ate bakasitooma abali ku nkola ya ‘light’ ebadde emanyiddwa nga YAKA, nga basooka kusasula ne balyoka bafuna amasannyalaze nabo emiwendo gino gigenda kutandika n’omwezi guno. Yasabye bakasitoma okwegendereza enkyukakyuka mu miwendo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});