Amawulire

David Lutalo akooye abaliira mu ddoboozi lye!

OMUYIMBI David Lutalo alagidde abamugeegeenya okukikomya.

David Lutalo akooye abaliira mu ddoboozi lye!
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

OMUYIMBI David Lutalo alagidde abamugeegeenya okukikomya. Newankubadde yakkiriza omuvubuka eyeeyita Junior Lutalo okusigala ng’amugeegeenya naye ate yamukomezza ku by’okugenda mu bifo ebimu nga yeeyita Lutalo yennyini.

Lutalo agamba nti ku bayimbi abamu, okugeegeenya eddoboozi lye takirinaako buzibu naye ate abamu bayita we bandikomye ne beeyita ye kennyini. Era yasinzidde wano n’amukomya okuyimba ku mikolo ng’embaga nti aba amufi iriza ssente ate n’abawagizi be ababuzaabuza. 

Yakkiriza Junior Lutalo okusigala ng’ayimba mu kaliyoki nga yeeyita Junior Lutalo afune ku ssente.

Tags:
Amawulire
Lutalo
Kuyimba
Ddoboozi