Aba UMEME beetondedde abantu olwa amasannyalaze agabadde gavaako nga tebannawaayo office
Apr 05, 2025
Bano beetondedde abantu olw'amasanyalaze agabadde gavaavaako wiiki ebbiri eziyise nga nga tebannawayo buyinza eri ekitongole kyamasannyalaze ekyazze mu mitambo ki Uganda Electricity Distribution Company limited (UEDCL)

NewVision Reporter
@NewVision
Bano beetondedde abantu olw'amasanyalaze agabadde gavaavaako wiiki ebbiri eziyise nga nga tebannawayo buyinza eri ekitongole kyamasannyalaze ekyazze mu mitambo ki Uganda Electricity Distribution Company limited (UEDCL).
Bino byayogeddwa akulira byokukwasisa amateeka mu kitongole kya UMEME Allan Rwakakooko eyategeezezza nti webaawereddeyo obuvunaanyizibwa ng'enzirukanya y'ebyamasannyalazze nnungi okusinga webakwasibwa obuvunanyizibwa mu mwaka gwa 1999.
Rwakakoko yategeezezza nti ekitongole ekyazze mu mitambo kyetaaga ssente nnyingi okutambuza emirimu gyakyo gavumeenti zerina okwongera okuteekamu.
Ye Munnamateeka okuva mu kitongole ekirabirira ebitongole bya masannyalazze ekya ERA Harold Odiga yagambye nti ekitongole ekipya wekitatuuka ku muwendo gw'abantu ababadde baganyulwa mu mpereza za UMEME bakubonerezebwa kubanga ekiruubirwa kya UMEME kyali kyakutuuka bitundu 80% ng'awekyawereddeyo obuyinza kibadde kiri ku bitundu 57.
Bano okwogera bino basinzidde mu lukungaana lw'abannamawulire olubeerawo buli Lwakuna ku kitebe kya bannamateeka ekya Uganda Law Society (ULS) ku luguudo lwa Acacia e Kamwokya.
Ye omumyuka wa Pulezidenti w'ekibiina ky'abannamateeka Anthony Asiimwe yasabye kkooti ejjulirwamu eyanguwe okuwulira okujulira okwateekebwamu akulira ekibiina kya bannamateeka Isaac Ssamakadde ku misango egyamusingibwa okuli kkooti ya Buganda road n'omulamuzi Musa Ssekaana eyamusiba emyaka 2.
Related Articles
No Comment