Okubba ebisolo kutadde abalunzi ku bunkenke

Apr 07, 2025

OBUBBI bw’ebisolo naddala embuzi n’ente bwongedde okweraliikiriza abalunzi.Ababbi basinze kuliimisa ebisolo ebirundibwa mu maka n’ebisibwa ku ttale gye babisumulula ku miguwa.  bubbi buno businga mu bitundu okuli

NewVision Reporter
@NewVision

OBUBBI bw’ebisolo naddala embuzi n’ente bwongedde okweraliikiriza abalunzi.
Ababbi basinze kuliimisa ebisolo ebirundibwa mu maka n’ebisibwa ku ttale gye babisumulula ku miguwa.  bubbi buno businga mu bitundu okuli; Luweero, Lugazi, Nakasongola ne Wakiso. Brian Mpiti, omutuuze mu munisipaali y’e Lugazi agamba nti, yali alundira ente ye awaka wabula baamukubira essimu nti nte ku nkondo teriiwo.
Yagenda ku poliisi e Lugazi gye baamutegeereza nti, waliwo ennyama y’ente eriko n’eddiba gye baakwatidde ku bbuca e Banda mu munisipaali y’e Nakawa era okutuukayo nga y’ente ye.
Ababbi baagisalamu ebitundu 4 n’eddiba lyayo ne bapakira mu bukutiya ne  bagitambuliza ku boda okutuuka mu bbuca emu e Banda, era nnanyini bbuca poliisi yamukwata.
Ate e Wakiso, poliisi yasuuzizza  ababbi ente 10 ze baabadde babbye ku batuuze babiri okuli Yudaya Najjuma ne Godfrey Muyonga nga baabaadde bamaze okuzifunira akatale, wabula Emmanuel Lubuuka omusuubuzi w’ente ng’akolera mu lufula y’oku Kaleerwe, yabekengedde rizibwa ku loodi bbulooka ku makubo.
Kino kisinga kukozesebwa ku nte eziba zitwalibwa e Hoima oba Masindi nga zibbiddwa e Luweero, Nakasongola ne Nakaseke.
 Abalala bakolagana butereevu n’abalaalo ne batikka ente okuva ku
 aamu z’abagagga oluvannyuma abalaalo ne baloopa ku poliisi nti, ente bazibabbyeeko.
 Abalala bakozesa nnamba puleeti ez’ebicupuli ku mmotoka kwe batambuliza ente ze baba babbye basobole okubuzaabuza ab’ebyokwerinda.
 Abamu okwewala okukwatibwa, basala ente ebyenda n’amaliba ne babireka. N’abandi bajingirira sitampu y’abasawo b’ebisolo ku pamiti nga n’oluusi bakolagana butereevu
n’basawo bennyini ne babibawa nga tebakakasizza oba ente si nzibe.
 Poliisi egamba nti, ababbi abasinga ente bazitambuliza mu mmotoka za buyonjo, era babeera n’ebyambe ebyogi bye bakozesa okusala ente oba embuzi, so ng’abalala bakozesa emmundu mu misoni zaabwe.
Abamu ente bazitema n’amaliba gaakwo ne bapakira ennyama mu iveera bwe batuuka ku midaala gyabwe ne bagaggyako.
Lipooti ya poliisi ku bubbi bw’ente omwaka oguwedde yalaze ng’emisango ino gyabadde 7,222 mu Uganda yonna. Okuva ku kkono ye, Mugerwa, Akankwasa, Mucunguzi ne Musisi nga bali ku poliisi e Wakiso.
Omuyimbi Fik Gaza eyakwatiddwa. bwe baabuliddwa ebbaluwa ezibakkiriza okutambuza ente zino, era n’atemya ku LC y’oku kyalo ne poliisi.
 bavubuka bano abana, poliisi yabazingirizza ku kyalo Mpunga mu Town Council y’e Wakiso. Abaakwate kuliko; Geo rey Musisi, William Akankwasa, Innocent Mucunguzi ne Christopher Mugerwa.
ABALALA ABATWATIDDWA MU BUBBI BW’ENTE
Joel Mpiima ne Steven Joseph Ssegujja, nga bombi batuuze ku kyalo Mazzi mu muluka gw’e Kikyusa mu disitulikiti y’e Luwero, baasangibwa batisse ennyama n’ente ennamu bbiri mu mmotoka ekika kya Toyota Wish nnamba UBF825B.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah, Sam Twiineamazima,m yategeezezza nti, abasajja bano baasooka ne babakwata ku misango gy’okubba ente kyokka ne bateebwa ku kakalu ka kkooti. Abakwate ente basinga kuzitunda e Wobulenzi,
Bamunaanika ne Ziroobwe, Gayaza, Kiteezi ne mu lufula y’oku Kaleerwe mu Kampala.
OBUKODYO BWE BAKOZESA

 Poliisi egamba nti, ababbi b’ente oluusi bazambaza yunifoomu z’amagye, oba okupangisa abaamagye okubawerekera, ne batakaluubi

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});