Amawulire

Eyayiye kasasiro mu mwala asuze Luzira: Abalala 20 babakutte

KCCA etandise okuluma bw'ekoze  ekikwekweto ku bamansa kasasiro mw'eyooledde abantu abasoba mu 20, omu eyakwatiddwa ku katambi ng'amuyiwa mu mwala n'asimbibwa mu kkooti, era asuze Luzira.

Katende
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

KCCA etandise okuluma bw'ekoze  ekikwekweto ku bamansa kasasiro mw'eyooledde abantu abasoba mu 20, omu eyakwatiddwa ku katambi ng'amuyiwa mu mwala n'asimbibwa mu kkooti, era asuze Luzira.
Mu bantu 20 abaakwatiddwa mwe mwabadde Ronald Katende, 26, ow'e Katwe eyasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Edgar Karakire mu kkooti ya City hall n’asomerwa omusango gw'okwonoona obutonde n’asindikibwa mu kkomera okutuuka nga April 15.
Kigambibwa Katende ye yalabikira ku katambi ng’ayiwa kasasiro omuyitirivu mu mwala
wakati mu nkuba eyali efudemba.
BAYODDE 20 E LUBAGA
Mu kikwekweto ekyakoleddwa mu bitundu by'e Lubaga,  abantu abasoba mu 20 baayooleddwa okusinziira ku atwala eby’obulamu mu Lubaga, Sulaiman Sempa. Sempa yagambye nti, ebikwekweto eby’engeri eno bikyagendera ddala mu maaso  okutuusa ng’abantu bafunye ku nsonyi ne bakomya omuze guno.