Otafire alagidde ekitongole kya poliisi ekikessi okukomya okukwata abantu

Apr 14, 2025

MINISITA w’ensonga z’omunda mu ggwanga, Maj. Gen. Kahinda Otafire alagidde ekitongole kya poliisi ekikessi okukomya okukola ebikwekweto ne kikwata abantu nti buno si buvunaanyizibwa bwakyo.

NewVision Reporter
@NewVision

MINISITA w’ensonga z’omunda mu ggwanga, Maj. Gen. Kahinda Otafire alagidde ekitongole kya poliisi ekikessi okukomya okukola ebikwekweto ne kikwata abantu nti buno si buvunaanyizibwa bwakyo.

 

Bwe yabadde ku mukolo gw’okutongoza okuzimba ekizimbe aw’okukung'aanyiza bwino akwata ku misango ku kitebe kya poliisi ekinoonyereza ku misango e Kibuli, Minisita Otafire yagambye nti kikyamu ekitongole ekikessi okwenyigira mu kukwata abantu kuba obuvunaanyizibwa bwakyo bwa kuketta n’okukungaanya amawulire ku bamenyi b’amateeka so si kubakwata.

Yagambye nti ekitongole ekikessi bwe kyenyigira mu kukwata abantu kibeera kisuddewo obuvunaanyizibwa bwakyo.

Yategeezezza nti era yagaana abaserikale okutta abamenyi b’amateeka kuba babeera beddiza obuvunaanyibwa bw’ekitongole ekiramuzi ng’omuntu yenna akwatibwa alina okutwalibwa mu kkooti awozesebwa.

Yasiimye ekitongole ekinoonyereza ku misango olw’okusitula omutindo mu mpeereza naddala ku nkwata y’emisango n’asaba abaserikale ku madaala aga wansi okuyigira ku babali waggulu.

Akulira ekitebe ekya poliisi ekinoonyereza ku misango, Tom Magambo yagambye nti ekizimbe ekigenda okuzimbibwa kigenda kubeera kya myaliriro 7 nga we bagenda okukuhhaanyiza n’okusengeka emisango gyonna okwetooloola eggwanga.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});