Abalangira n’abambejja bajjukidde Omulangira Fredric David Mulondo, eyawezezza emyaka 30 bukyanga afa. Omugenzi yafa nga June 30, 1995.
Vika wa Lutikko y’e Namirembe, Emmanuel Lutaaya, nga yakulembeddemu okusabira
n’okwebaza, yagambye nti omuntu yenna bw’afa kikakata ku balamu okumusabiranga.
Yeebazizza abalangira bano n’abambejja ku lw’omukolo guno.
Mu ngeri y’emu, yakubirizza abantu bulijjo okusomesanga abaana baabwe ku nsi, batuuke okufa nga bamativu n’ebyo bye balina kuba ebiseera bingi, abantu abamu bwe bafa, emyoyo gyabwe gisigala gisumbuwa abalala.
Katikkiro Peter Mayiga, nga yakiikiriddwa, minisita w’obuwanga n’ennono e Mmengo, Dr. Antony Wamala yeebazizza omulangira Mulondo ono olw’okuweerera abaana n’ava mu nsi nga balina ebirungi bye basobola okukola n’akubiriza abalala okumukoppa.
Mayiga yasiimye omulangira ono
olw’ettoffaali eddene lye yassa ku bwakabaka. Nnaalinnya Beatrice Namikka ku lw’enju, yasiimye omulangira ono olw’omukwano gwe yalina eri ffamire ye ekyabasobozesa okubeera obulungi n’asaba abaana okukwatagana nga bakoppa kitaabwe bye yakola. Ku lw’abaana, Omulangira Jonathan Muteesa yasiimye abalangira n’abambejja olw’okutegeka
okwebaza Katonda olw’emirimu kitaabwe eri Obwakabaka. Omumbejja Nantale Mulondo,
yeebazizza Katonda olw’obulamu bwe yawa kitaabwe n’abakuza bulungi kuba abaana bangi bakula nga tebafunye mukisa gwa kulambikibwa bazadde baabwe