Bulijjo twenenyezenga bannaffe mu famire tusobole okugenda mu maaso

Apr 20, 2025

REVEREND Nathan Mugalu Balirwana, Omusumba w’Obusumba bw’e Mwereerwe,agamba nti, Amazuukira ga Yesu musomo munene eri amaka olw’ensonganti, Yesu anunudde ensi yazaalibwa mu Maka ga Yozefu ne Maria era n’akuzibwa bulungi, ekiraga nti, amaka ga

NewVision Reporter
@NewVision

REVEREND Nathan Mugalu Balirwana, Omusumba w’Obusumba bw’e Mwereerwe,agamba nti, Amazuukira ga Yesu musomo munene eri amaka olw’ensonga
nti, Yesu anunudde ensi yazaalibwa mu Maka ga Yozefu ne Maria era n’akuzibwa bulungi, ekiraga nti, amaka ga

 e mwe tulina okuzimbira obuvunaanyizibwa mu baana ba e.
Mu Matayo 26:14-16, tulaba Yuda Iscariot eyalya mu Yesu olukwe nti, wadde yakola ekibi n’agezaako okudduka n’oluvannyuma ne yetta, lino ssomo lyennyini erituyigiriza
okwewala ekibi mu maka ga e olw’ensonga nti, ekibi kijja n’ebikolimo mu bulamu bwa e. Pilaato, ng’omukulembeze ayogerwako mu lugendo lwa Yesu olwa aasika mu Matayo 27:24, nti, oluvannyuma lwa puleesa eyamussibwako okuva mu bantu yanaaba
engalo ze n’awaayo Yezu omusango n’agussa ku bo abaali basaakaanya akomererwe. Mu maka ga e taata ne maama abakulembera amaka basaanye okutwala obuvunaanyizibwa bwabwe ku nsonga zonna awatali kwekwasa balala nga Pilaato
bwe yakola.
Mu Lukka 22:54-62, Petero yeegaana Yesu mu kiseera eky’okubonabona kwe, wabula
newankubadde yamwegaana, Yesu yamusonyiwa. Ne bwe yamusanga nga yaddayo dda  okuvuba, yamusonyiwa nga bwekiri mu (Yokana 21). Ekitegeeza nti, na e mu maka
ga e wadde nga tufunye okutabukatabuka, tulina okusonyiwagana okusobola okusigala obumu nga Petero ne Yesu. Maria Mangadalena gwe tusomako mu Yokaana 20:11-18,
nti, teyavaawo ne Yesu bwe yali amaze okufa. Mangadalena eraye yasooka okulaba n’ayogera nti, “Ndabye Mukama wa e”, era ennaku essatu bwe zaayitawo
n’agenda okuteeka obuloosa ku mulambo gwa Yesu. Ensonga lwaki abakyala be baasooka okujulira okuzuukira kwa Yesu ekiraga nti, amaanyi g’abakyala mu maka, ne
mu biseera ebya kazigizigi basigala
banyweevu ekituyigiriza nti, tulinaokubeera ne banna e mu buli mbeera mu maka.
Yozefu ow’e Alimesiiya ayogerwako Yokana 19:38-42, tumulaba
nga yagoberera Yesu mu kasirise, era Yesu bwe yafa n’avaayo n’agamba nti, kaaziike Yesu mu ntaana gye yasima ne Nikoddemu ne balaga okukkiriza eri Yesu. Na e mu
maka ga e tusaanye okunyweza okukkiriza kwa e mu Katonda
atuluηηamye mu buli kimu.
Maria Nnyina Yesu, yali ne Yesu mu kubonyabonyezebwa okutuuka okuttibwa, akabonero akalaga omukwano gwa maama. Era abantu balina okubeera n’omukwano
ogwa nnamaddala mu famire nga balabira ku Maria Nnyina Yesu omuzadde omwesigwa.
Matayo 28, alagaba obuweereza n’obuzira obw’Abakyala ku ntaana ya Yesu nti, newankubadde nga entaana yali emaze okuggalwa era ng’ekuumibwa, abakyala baayambala okukkiriza kwabwe ne bagenda ku ntaana ya Yesu era ne bafuna
amawulire gennyini ag’okuzuukira kwe Yesu nga Malayika abawa nga bwe kyawandiikibwa mu Matayo 28:1-10, nti, na e mu maka ga e tulina okubeera abavumu. Abalala nga batidde olw’ebizibu ebirumbagana amaka ga e tulina kusigala
nga tunyweredde ku Katonda oyo aleese essuubi mu kuzuukira kwe.
Omuserikale Omuluumi  Omusenkyaliya eyawandiikibwako mu Matayo 27:42 nti,  wadde nga yeenyigira mu kutta Yesu, bwe yalaba ng’afudde n’atya era n’akkiriza nti, ono gwe tusse ddala mwana wa Katonda ne yeenenya akabonero akalaga nti, na e mu
maka ga e tulina ekiseera eky’okwenenyeza banna e ku nsobi ze
tukola amaka okusobola okugenda mu maaso

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});