Omuvubuka abadde agezaako okuggya emmundu ku muserikale akubiddwa amasasi n'afa
Apr 21, 2025
Umaru Kato ye yakubiddwa amasasi e Kyaliwajjala, poliisi bwe yabadde enoonya emmundu egambibwa okuba nti gy'abadde akozesa era mu kavuyo kano, nti era yagezezzaako okuggya emmundu ku musirikale ne bamukuba amasasi.

NewVision Reporter
@NewVision
Omuvubuka agambibwa okugezaako okuggya emmundu ku muserikale akubiddwa amasasi n'afa nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro e Mulago.
Umaru Kato ye yakubiddwa amasasi e Kyaliwajjala, poliisi bwe yabadde enoonya emmundu egambibwa okuba nti gy'abadde akozesa era mu kavuyo kano, nti era yagezezzaako okuggya emmundu ku musirikale ne bamukuba amasasi.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, agambye nti , oluvannyuma lw'okwaza ennyumba, bazuddeyo magaziini omuli amasasi, n'ebyambalo ebyefaaanyiriza eby'ekijaasi, era ne bakwata ne muganda we Haruna Wasswa.
Ate ababbi abannategekereka, balumbye amaka ga Eddie Nsubuga 39 e Nalubungo e Muduuma ne bamunyagako ebyomu maka omuli n'emmotoka ye.
Kigambibwa nti obulumbaganyi buno, bukoleddwa ku ssaawa nga 7:00 ogw'ekiro, abeebijambiya nga Munaana, bwe bayingidde ne banyaga tv bbiri, amasimu 6, emmotoka UBB 235 S ekika kya Spacio nga muno mwe batwalidde ebibbe.
Onyango, agambye nti emmotoka oluvannyuma , bagisudde Sentema. Ate emmotoka ebadde evugibwa Martine Agaba 31 e Mmende Road e Wakiso, Nissana Navara UBM 046 M egambibwa okukoona n'etta omwana Lovince Nakalema 3, muwala wa Jackson Jjuuko. DDereeva akwatiddwa era okubuuliriza kugenda mu maaso e Wakiso ku poliisi.
No Comment