Munnayuganda nkubakyeyo atomedde Omuzimbabwe n'amutta lwa kumwagalira mukazi!

Apr 21, 2025

MUNNAYUGANDA nkubakyeyo e South Afrika, awuniikirizza ensi bwe yakutte emmotoka n’atomeratomera munnansi wa Zimbabwe emirundi 5 okutuusa lw’amusse ng’amulanga kumwagalira mukazi!

NewVision Reporter
@NewVision

MUNNAYUGANDA nkubakyeyo e South Afrika, awuniikirizza ensi bwe yakutte emmotoka n’atomeratomera munnansi wa Zimbabwe emirundi 5 okutuusa lw’amusse ng’amulanga kumwagalira mukazi!

Ali Mugoya yakutte emmotoka ye ekika kya Ford Ranger ey’ebipiira eby’enjola ennene n’agitomesa nkubakyeyo munne Emmanuel Mahamba, 29, mu ngeri eyalese buli eyabaddewo ng’amutenda omutima omubi ng’ogwa ‘Ssite-kanso’!

Ali Mugoya Ne Muganzi We Ntombi.

Ali Mugoya Ne Muganzi We Ntombi.

Ettemu lino lyabadde ku luguudo lwa 12th Avenue, okumpi ne webakanikira obugaali ku kizimbe kya Mzanzi e Rivonia mu kitundu ky’e Santon e South Afrika nga April 15 era olwamaze okutta munne Mugoya yavuze mmotoka ye n’abula nga n’okutuusa kati akyayiggibwa.

Omukazi ndibassa ye Thombizodzwa Ntombi, munnansi wa Zimbabwe, kigambibwa nti abasajja bombi; Mugoya ne Mahamba babadde bantu be nga Mugoya abadde amulinamu abaana 2.

Okusinziira ku Ntombi (Ndibassa), agamba nti muganzi we Mahamba, ye yasoose okukwata ejjinja n’akuba endabirwamu z’emmotoka ya Mugoya, era nga wano ensiitaano we yatandikidde.

Agamba nti yajja nga kasitoma we n’amuguza akagaali kyokka n’atandika okumukwana oluvannyuma n’amwesonyiwa (Mahamba), ng’atya obufumbo bwe ne Mugoya, bwe bamazeemu emyaka esatu okusasika kyokka n’amulemerako, ng’amulondoola buli wamu.

Ntombi, agamba nti sitaani lwe yasooka okumukema, yakyalira Mahamba, ku kizimbe kwe yali asula nga tamanyi nti kwaliko ne Bannayuganda abasulako, era nga bano baamukwata akatambi ka vidiyo nga yeekutte ne Mahamba, bwe yali amuwerekera.

Mahamba Eyattiddwa.

Mahamba Eyattiddwa.

Ayongerako nti kino olwakimanya, n’asalawo okwesonyiwa Mahamba, kyokka n’asigala ng’amulemerako. 

Akulira Poliisi mu ssaza ly’e Gauteng, Kaminsona- Lt. Gen. Tommy Mthombeni yategeezezza nti bataddewo ttiimu y’abaserikale abakugu banoonyereze ku njega eno, n’okuyigga Mugoya yonna gye yeekukumye akwatibwe.

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kino, Col. Dismakatso Nevhuhulwi, yategeezezza nti emmotoka eyakozeseddwa mu ttemu lino yazuuliddwa nga basuubira nti ejja kubayamba kinene okuzuula omutemu gyali.

Oluvannyuma lw’ekikangabwa ekyaguddewo, kigambibwa nti Bannayuganda, bangi beekukumye olw’okutya nti bannansi ba Zimbabwe bayinza okubatuusaako obulabe mu ngeri y’okubeesasuza.

Bino webijjidde nga bangi ku bannansi ba South Africa beekokkola abagwiira, olw’okwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka omuli okubafera ssente, obutemu, n’okubatwalako emirimu gyabwe, ekimu ku kyabaviirako n’okwekyawa ne batandika kampeyini ey’okubagoba baddeyo gye baava. 

Okusinziira ku b’ekibiina ekitakabanira eddembe ly’obuntu e Zimbabwe, ekya Advocacy for Human Rights and Democracy, omugenzi abadde akola bwa bbaawunsa e South Afrika.

Bagamba nti bangi ku bannansi baabwe bazze battibwa mu bukambwe e South Afrika mu ngeri etategeerekeka, ne basaba ab’obuyinza waakiri ku mulundi guno bakole ekisoboka Mugoya, akwatibwe era avunaanibwe.

Bino webijjidde nga waliwo ekibinja kya Bannayuganda abeeyita ‘Abasangoma’, abayiggyibwa ku by’okufera bannansi ba South Afrika. Omu ku bo amanyiddwa nga ‘Dr. Kalvin Sofika’. Kigambibwa nti ono yafeze Omuserikale wa Poliisi omukazi ssente za South Afrika.

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kino, Sabata Mokgwabone yategeezezza nti omu ku bo yeeyita Dr. Kalvin Sofika’ eyefuula akwana ofiisa waabwe owa Poliisi kyokka oluvannyuma n’amufera ssente ze obukadde bubiri mu emitwalo 90 (R2.9m), mu za Uganda bwe bukadde 587.

Okunoonyereza okukoleddwa kulaga nti, ofiisa ono atemera mu myaka 53, egy’obukulu, yasisinkana ne Munnayuganda ku supamaketi mu kibuga Rustenburg.

Wadde ng’emisango gy’okufera abantu mingi egiroopebwa e South Afrika, abeebyokwerinda eky’okufera ofiisa munnaabwe kyabakuba wala nnyo, kwe kusalawo okutandika ebikwekweto ku bantu abalala ababadde bagufudde omulimu, era ng’abawerako bazze bakwattibwa n’abalala bangi bakyawenjebwa.

Kigambibwanti abasing okwenyigira mu mize gino, bwe bakomawo wano e Uganda, nga beeyita ba ‘Dooni’ nga bajooga ng’enjogera y’ensangi zino bw’eri wakati mu kusasasaanya ssente.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});