Enzijanjaba ya ssennyiga asusse
Apr 24, 2025
SSENNYIGA bumu ku bulwadde obweyongedde ennaku zino era ng’abantuabamu abagondeza ddala ne babeera ng’abalwadde b’omusujja. Ssennyigaaleetebwa obuwuka obusirikitu obwa vayiraasi.

NewVision Reporter
@NewVision
SSENNYIGA bumu ku bulwadde obweyongedde ennaku zino era ng’abantu abamu abagondeza ddala ne babeera ng’abalwadde b’omusujja. Ssennyiga aleetebwa obuwuka obusirikitu obwa vayiraasi.
Buno butambulira mu mpewo singa omuntu amulina ayasimula, akolola oba ayogera ng’aliraanye omulala akawuka ne kamutuukako. Vayiraasi zino zisobola okusaasaanyizibwa nga ziyita mu kukwata ku bifo ebiriko akawuka ate n’okwata mu
maaso, ennyindo oba mu kamwa.
Dr. Muzafaru Gizamba, omusawo ku ddwaaliro lye Ssanyu Hospital e Katooke, agamba nti, okwawukanako n’emyaka egiyise, leero omuntu akwatiddwa ssennyiga, anafuyira ddala, okufuna olusujjasujja, okulumwa omutwe, okunafuwa omubiri n’okufuna
obumenyefumenyefu, n’ebirala, ate ng’ayinza okutwala wiiki ezisoba mu ssatu nga mulwadde.
VAYIRAASI EJJA N’EMBEERA Y’OBUDDE ERWAZA SSENNYIGA ATAWONA MANGU
Dr. Gizamba annyonnyola nti, obuwuka bwa vayiraasi obumu butambula n’embeera
y’obudde nga ssennyiga ono amanyiddwa nga ‘Seasonal
fl u’. Buno bwe buvaako ssennyiga ow’amaanyi era alwawo okuwona nga
bw’olaba ow’ensangi zino.
Wabula nga buno sizoniemu bw’ekyuka nga nabwo bufa. Obuwuka obulala obulwaza ssennyiga kuliko; Rhino Virus ne Adeno Virus.
Wadde nga ssennyiga ono bw’akwata omuntu amulumira ddala, naye obulabe bwe
tebwenkana bwa ssennyiga omukambwe owa Covid 19.
OBUBONERO BWA SSENNYIGA
Okwasimula.
Okukulukuta eminyira.
Ennyindo okukwata oba okuzibikira n’okaluubirizibwa mu kussa.
Okulumizibwa omutwe.
Okunafuwa omubiri n’obumenyefumenyefu. Okufuna olusujjasujjanaddala u baana abato, n’ebbugumu ly’omubiri okulinnya ne batandika okwokya.
OBUJJANJABI BWA SSENNYIGA
Omulwaddde abeera yeetaaga Vitamiini C. Ono tajjanjaba ssennyiga,
wabula ayamba okwongera
No Comment