Abakyala ba Insurance basse omukago n'eddwaliro lye Kawempe
Jun 11, 2025
Abakyala bannayinsuwa abeegattira mu kibiina kya Women In Insurance (WIN) basse omukago n’abeddwaliro ly’eKawempe okutaasa abawala abafuna embuto nga tebanneetuuka wamu n’abazifuna mu butanwa.
By Silvano Kibuuka
Journalist @New Vision
Abakyala bannayinsuwa abeegattira mu kibiina kya Women In Insurance (WIN) basse omukago n’abeddwaliro ly’eKawempe okutaasa abawala abafuna embuto nga tebanneetuuka wamu n’abazifuna mu butanwa.
Omukago bagukoze bwe bakyalidde eddwaliro lino ne bagabira abawala ensawo emamyiddwa nga ‘Maama Bag’ omuli ebikozesebwa mu kuzaala.
Aba WIN bawadde n’eddwaliro ekyuma ekikozesebwa mu mupima puleesa nga kyakukozesebwa mu bakyala abali mu kilinika y’abembuto.
Abakyala ba Insurance nga bali n'abeddwaliro lye Kawempe
Bino babikwasizza akulira eddwaliro lino Dr. Emmanuel Byaruhanga ng’abadde n’abamu ku basawo mu bitongole ebitali bimu okubadde DR. Lawrence Kazibwe, Rachael Samantha Nanzira n’abalala.
Aba WIN bakulembeddwa omumyuka w’akakiiko abavunaanyizibwa ku misomo mu ttendekero lya yinsuwa erya Insurance Training College, Sylivia Kajubi ne Proscovia Babi eyakiikiridde Hajat Aphwa Sebyala akulira ekibiina kya WIN.
Bano basiimye ebikolebwa mu ddwaliro lya Kawempe.
“Mu mukago gwe tukoze, tujja kubatuusa ku bakyala bangi mubunyise ejiri y’okujjumbira okwekebeza ebirwadde nga puleeza kubanga tutuukirira ebitongole bingi omuli abakyala,” Kajubi bwe yategeezezza.
Abakyala ba Insurence nga bagaba ebintu
Bannayinsuwa basomeseddwa nti ekirwadde kya puleesa kye kisinga okuvaako abakyala okufa nga bazaala n’abaana okufuna obuzibu obutali bumu era ne babakubiriza okwekebezaanga pulessa bafune obujjanjambi ng’obudde bulyali.
Akulidde okusomesa kuno, Dokira Rachael Samantha Nanzira annyonyodde ku kirwadde kya Preeclampsia ekireeteebwa puleesa eyitiridde.
“Mufube okwekebeza ekirwadde kya puleesa nga muli mbuto kijjanjabwe nga bukyali,” Dokita Rachael Nanzira bwe yategeezezza ng’asomesa.
Abasawo baalambuzza aba WIN ezimu ku waada abakyala bwe bafunira obujjanjabi nga bali mbuto.
No Comment