Ababbi bazzeemu okusala waya z'amasamnyalaze e Nakasongola ne bakuliita nazo

POLIISI y'e Nakasongola eyigga ababbi abaasaze waya z'amasannyalaze ku kyalo Kyabutaika mu Kakooge town council ne bakuliita nazo.

Ababbi bazzeemu okusala waya z'amasamnyalaze e Nakasongola ne bakuliita nazo
By Samuel Kanyike
Journalists @New Vision
POLIISI y'e Nakasongola eyigga ababbi abaasaze waya z'amasannyalaze ku kyalo Kyabutaika mu Kakooge town council ne bakuliita nazo.
 
Waya z'asaliddwa ku bikondo bibiri mu kiro ekyakeesezza Mmande  era abatuuze bagamba nti ku ssaawa we baasaliddemu ebikondo bino baalabye mmotoka y'ekitongole ky'amasamnyalaze ekya UCDL ng'efubutuka mu kitundu kino ng'edda e Luweero ng'etambula mpola ng'essizaako amataala.
 
Omwogezi wa poliisi mu Savanna ASP Sam Twineamazima ategeezezza nti baatuuse mu kitundu ne basanga ebikondo ebyasaliddwaako waya ne n'aggulawo omusango gw'okubba waya nga bwe bawenja abaakoze ekikolwa kino.
 
Ssentebe wa disitulikiti ya Nakasongola Sam Kigula yategeezezza nti obubbi bwa waya z'amasannyalaze bucaase nnyo mu kitundu kino naddala mu ggombolola y'e Kakooge, Katuugo n'ebintu ebirala ekireka abatuuze mi kibululu n'abalala omuli abatundira eby'okunywa okufiirwa bizinesi zaabwe
Ends