Poliisi ekutte ekibinja ky’abavubuka ekikkakkana ku bantu be basanga nga batambula n’abakola emirimu gyabwe, ne bababba obutabalekera kantu wakati mu kubakuba ebikonde, empi n’ensambaggere, emisano ttuku.
Ebavubuka bano be bamu ku abo abagambibwa okuba nti baapangisibwa bannabyabufuzi mu kulonda kw’akamyuufu ka NRM akaakaggwa ne bakola effujjo nga beeyita abalonzi.
Baakwattiddwa ekitongole kya Poliisi ekikkessi ekya Crime Intelligence, oluvannyuma lw’akatambi okusasaana ku mikutu gya yintanenti ng’abavubuka bano baliko abantu be bakuba n’okubba nga July, 17, 2025.
Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire, yategezezza nti bano okwabadde; Meddy Katongole alias Baros, 20, Phillip Were, Sharif Lubwama, Patrick Wasike, Brian Ngobi, Shafiq Mugisha, Sebisaba Rashid, Emmanuel Ochwo, Abdul Rakim Kakooza, Brian Ominga, omutuuze w’e Wabigalo.
Poliisi egamba nti bano beegasse ku bavubuka abasooka okukwatibwa omunaana nga kati wonna abaakakwattibwa baweze 18.
Okunoonyereza kulaga nti bano buli lwe babapangisa okuleetawo akacankalano, buli omu asasulwa ssente enkumi ttaano bwe bamala ekibatutte, nga ssente endala bazijja mu bantu ku mpaka, nga beerimbise mu by’obufuzi.