‘AKATALE K’AMAGI GANGE KATANDIKIRA KU BALIRAANWA

MUNNAMATEEKA Denis Bugaya omukungu wa Buganda Land Board yeenyigidde mu bulunzi bw’enkoko z’amagi, aweza 30,000 ng’alundira ku ffaamu ya Brooks Agro Farm esangibwa ku kyalo Kitojo mu ggombolola y’e Buwama mu Mpigi.

Bugaya ng’asomesa abalunzi endabirira y’amagi mu sitoowa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

MUNNAMATEEKA Denis Bugaya omukungu wa Buganda Land Board yeenyigidde mu bulunzi bw’enkoko z’amagi, aweza 30,000 ng’alundira ku ffaamu ya Brooks Agro Farm esangibwa ku kyalo Kitojo mu ggombolola y’e Buwama mu Mpigi.
Ffaamu eno etudde ku yiika 30 ng’alonda ttule z’amagi 500 buli lunaku. Ku ffaamu y’emu kuliko, embuzi, obumyu, olusuku, ennaanansi, kalittunsi, ebbaala n’ebirime ebirala.
Munnamateeka ono, omu ku balimi n’abalunzi abagenda okwetaba mu  mpaka z’Omulimi Asinga.
Empaka z’Omulimi Asinga zitegekebwa kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde, ng’eri wamu n’ekitebe kya Budaaki n’obuwagizi okuva mu bbanka ya dfcu, kkampuni ya KLM Royal Dutch Airlines ne Koudijs BV.
NTANDIKA FFAAMU
Dennis Bugaya annyonnyola nti: Nnali nneegomba dda okutandikawo bizinensi eyingiza ssente buli lunaku, kwe kufuna ekirowoozo ky’okulunda enkoko. Kino nakiggya ku bantu be ndaba batunda ebyokulya eby’amangu ku mabbali g’enguudo mu bitundu eby’enjawulo.
“Tewali atalya ate embeera y’ebyokulya evudde mu bifo ebiriirwaamu n’edda ku nguudo.
Abantu tebakyalina budde, bettanira byakulya byangu omuli; amagi, enkoko chapati n’ebirala,” Bugaya bw’agamba. Enkola eno ebunye mu bubuga obw’enjawulo era y’ekola ssente. Obulunzi n’obulimi nali mbumanyi kuba bwe butuweeredde mu masomero amalungi.

Mu 2019 natandika obulunzi nga bizinensi n’enkoko z’amagi 1,000. Buli ssente ze nafunangamu ate nga nzizzaamu okutuusa lwe mpezezza enkoko 30,000 nga nnonda ttule z’amagi 500. Ate zonna singa zibiika zandibadde zisingawo.
ENTAMBUZA Y’EMIRIMU

Ffaamu yange ngiddukanya mu ngeri ya kkampuni nti, ne bwe mba siriiwo etambula. Yafuuka nga yanti, buli mukozi ayingira afuuka kumpi waaluganda.
Kuliko abakozi abasoba mu 38 buli omu alina omulimu gw’akola.
Balina abakulembeze ab’enjawulo abakugu okutandikira ku maneja,
musawo atwala ebyobulamu ku ffaamu, ababazi b’ebitabo kw’ossa abalambika enteekateeka z’enkulaakulana okukakasa nti, buli kimu kitambula bulungi.
Abakola mu biyumba by’enkoko ba njawulo, abatabula emmere y’enkoko, embuzi, obumyu n’ebirala.
Abakugu bano be bavunaanyizibwa ku lipooti y’olunaku. Aba ffamire nabo beenyigiramu okusigalamu omutima gw’okulunda nga bizinensi.
Ekirala, abakozi ku ffaamu eno wadde yakuguka mu kirala afuna enkizo y’okusoma n’afuna obukugu mu kintu ekirala kyonna. Ndeeta abakugu ababatendeka emirimu
gy’omu mutwe ng’okufumba emigaati oba keeki n’ebirala.
BYE NZISSAAKO ESSIRA KU FFAAMU

Okutandikawo ffaamu nayagala okugifuula ey’obulambuzi, nateekako amayumba g’abagenyi ag’omulembe ge basobola okusulamu
nga bakyadde. Geetooloddwa emiti, nateekamu n’obutebe abagenyi we bawummulira nga bamazeokulambula. Batuulamu empewo n’ebafuuwako nga we babagabulira ekyokunywa n’okulya. Ebibala omuli; obutunda, amapaapaali mwe tukamula omubisi gwe bagabula tubirima ku ffaamu.
Ekirala, ffaamu ngitwala nga ssomero ly’obulimi n’obulunzi, bangi omuli abayizi okuva mu matendekero g’ebyobulimi bayigirako bingi, kuliko ebisulo. Omuyizi wadde ali mu
kugezesebwa bonna basasulwa.
Ekirala buli akyadde ku ffaamu abeera wa ffamire, balina okumugabula emmere kasita atuukira mu budde by’ekijjulo kyonna okuva ku kyenkya, ekyemisana oba ekyeggulo.
AKATALE
Buli lunaku, amagi bagatwala gonna ne gaggwaawo nga bakasitoma bageenonera ku ffaamu. Bakasitoma baffe tubadde nabo okumala akaseera kubanga abasuubuzi batwetoolodde.
Bakimanyi amagi gaffe ga mutindo mulungi kuba mayonjo nga gaggyibwako obucaafu bwonna.
Ttule y’amagi bagitunda 10,500/- ne 12,000/- okusinziira ku katale kaago. Tetukkiriza kukwata ssente ku ffaamu, bakasitoma bazissa butereevu ku akawunti ya ffaamu n’aleeta lisiiti kw’asasulidde.
Kiyamba okukola embalirira ennungi ku ffaamu n’okwewala ababbi abali batandise okutuusa obulabe ku bakasitoma baffe Buli musuubuzi alina olunaku lw’anona amagi, era buli omu aliko oluguudo lw’akwata ng’agaba amagi si kuyingirira bakasitoma ba munno.
ABANTU BYE BAFUNYE KU FFAAMU
  Bakasitoma bantu baffe abatwetoolodde, ate mbawa emisomo gy’okwekulaakulanya nga bayize okutereka n’okwewola.
l Nnaleeta abakungu ba bbanka ya Centenary abaabazibula amaaso nti, obusuubuzi bw’amagi bizinensi gye basobola okukozesa okwewola ssente ne beekulaakulanya. Buli
lwe bateekako ssente kiraga nti, siteetimenti etambula.
l Era bakasitoma beekolamu SACCO ebayamba okukolera awamu n’okwekulaakulanya mu birala ebibagatta.
l Emirimu egimu giweebwa bakukyalo ekibayamba okukyusa obulamu bwabwe.
l Nnyambyeko okuweerera abaana okuva mu bitundu eby’enjawulo, era abamu ku baana  basalawo okusigala mu luwummula ku ffaamu.
TEKINOLOGIYA N’EBY’OMU MAASO
Mmaze okuteekawo tekinologiya omupya agenda okukyusa ennunda y’enkoko
ku ffaamu eno.
Tekinologiya ono wa kiyumba eky’omulembe nga namuggye Girimaani nga mwe hhenda okutandika okulundira enkoko eziddako okuleetebwa ku ffaamu mu myezi ebiri
mu maaso.
Ekiyumba kino kigenda kulundirwamu enkoko emitwalo etaano.
Kikoleddwa nga kisobola okukola lipooti ku mbeera yonna egenda mu maaso. Kiraga  bbugumu, empewo n’ebirala. Kikekkereza byonna ebikozesebwa mu buffamirelunzi bw’enkoko kubanga zinywera ku nnywanto, emmere teyiika nga zirya.
Ennyumba ebeera nnyonjo nga nkalu ekikendeeza endwadde. Kalimbwe agenda afuluma ng’asindikibwa n’olujegere olwetooloola n’atuuka mu kifo waakuh− haanira wabweru we bamuggya okumutwala mu nnimiro. Wabula ennunda y’enkoko mu biyumba ebikadde yaakusigalawo okutendeka abatandika obulunzi bwazo.
EBITUYAMBYE OKUKULAAKULANA
l Obuyonjo ku ffaamu nga butandikira ku bayingira mu kiyumba balina okulinnya mu ddagala. Kalimbwe akyusibwa buli luvannyuma lwa myezi ena ne bateekamu obukuta obupya. Wabula atundibwa ku 20,000/-, buli kisawo. l Okukolera awamu nga ttiimu. Bugaya agamba nti, waliwo akakiiko akalondoola emirimu gya ffaamu nga
yaakakulira.
l Ebyokwerinda n’empuliziganya ku ffaamu byanywezebwa era buli mukozi alina ‘walkie talkie’ okusobola okuwuliziganya n’abalala.
l Ekirala bizinensi ku ffaamu zitambulira wamu nti, emu ewanirira endala. Kalimbwe ayiibwa mu nnimiro omuva emmere abakozi gye balya n’ebirala.
OKUSOOMOOZEBWA KWE TUSANGA
l Ebikozesebwa eby’ebicupuli by’eddagala.
l Enkyukakyuka ku bbeeyi y’ebintu ebikozesebwa.