MINISITA avunaanyizibwa ku kikula ky’abantu, Betty Amongi atenderezza bannabizinensi olw’okuyambako Gavumenti mu kuwa bannansi emirimu nga bayita mu kutandikawo amakolero agatali gamu.
Yategeezezza nti, kino kiyambyeko mu kukendeeza obumenyi bw’amateeka naddala mu bavubuka olw’ensonga nti, babeera balina eby’okukola bwatyo n’akuutira Bannayuganda bulijjo okuwagira ebintu ebikolebwa kuno.
Minisita okwogera bino yabadde mugenyi mukulu ku mukolo ogwabadde ogw’okusiima bannabizinensi abatadde ettoffaali eddene ku by’enkulaakulana y’eggwanga ssaako n’okubeera ab’enkizo mu nzirukanya y’emirimu ng’omukolo guno gwabadde mu Kampala era ne gutegekebwa aba ‘People’s choice quality awards 2025’.
Amakampuni agaasobye mu 100 ge gaasimiddwa era ne gaweebwa awaadi.
Kkampuni ya Horeb- Services Uganda Limited etwala abantu wabweru ku kyeyo ye yasinze zinnaayo mu kufunira Bannayuganda emirimu mu nsi z’ebweru era agikulira Ezra Mugisha yeebazizza gavumenti olw’okubawa omwagaanya okuweereza bannansi n’ategeeza nti, okuva mu 2007 okutuuka leero basobode okutwala abantu abasoba mu mitwalo 4 mu mawanga ag’enjawulo okukola.
Kkampuni endala ezaasiimiddwa kwabaddeko ey’amagye g’eggwanga ng’eno y’ekola amazzi ekika kya Uzima Natural Mineral water ‘ era Maj. Edgar Akwasa agikulira yeebazizza nnyo olw’okusiima omulimu gwe bakola n’ategeeza nti, bo nga ab’eggye ly’eggwanga baakugenda mu maaso n’obuyiiya obw’enjawulo ku lw’enkulaakulana y’eggwanga. Kkampuni ya Reckitt brands yaweereddwa awaadi ssatu olw’okukola ebintu ebiri ku mutindo okuli ssabbuuni w’amazzi ayoza engoye, Jik, ssabbuuni wa Dettol ne Mortein doom so nga n’abakola ebyokulya aba kkampuni ya Indomie nabo baaweereddwa awaadi