Abavuga amayirungi batomedde omutaka w’e Buddo n’afa

ABATUUZE ku kyalo Nakasozi e Buddo mu Town Council y’e Kyengera bawanjagidde ministule y’ebyenguudo okwongera okubateera obugulumu mu luguudo  lwabwe lwe bagamba nti lususse okubeerako obubenje. Kiddiridde omuvuzi wa booda eyabadde atisse amayirungi ng’avuga sipiidi okutomera eyali omumyuka w’omukulu w’essomero lya Budo Junior School n’amutta.

Namwandu Joyce Nabunya ng’ateeka ekimuli ku ssanduuko y’omugenzi Kiwanuka (mu katono bw’abadde afaanana).
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABATUUZE ku kyalo Nakasozi e Buddo mu Town Council y’e Kyengera bawanjagidde ministule y’ebyenguudo okwongera okubateera obugulumu mu luguudo  lwabwe lwe bagamba nti lususse okubeerako obubenje. Kiddiridde omuvuzi wa booda eyabadde atisse amayirungi ng’avuga sipiidi okutomera eyali omumyuka w’omukulu w’essomero lya Budo Junior School n’amutta.
Hannington Kiwanuka 81, nga yaliko omumyuka w’omukulu w’essomero lya Budo Junior mu 1978 ye yatomeddwa booda bwe yabadde asala oluguudo. Abatuuze baamuddusizza mu ddwaaliro e Lubaga gye yafiiridde. Omukolo gw’okumuziika gwatandise n’okusaba mu maka ge era omusumba w’e Nsangi, Kisaakye Ntale Ssaalongo ye yakulembeddemu n’asaba abavuzi b’ebidduka okweddako baleme
kuvugisa kimama.
Omu ku batuuze, Joseph Lubega yategeezezza nti oluguudo luno naddala mu katundu
k’oku Matutu okutuuka ku ky’e Buddo obubenje bugwaawo nnyo n’asaba wabeewo ekikolebwa. Scovia Namutebi, naye nga mutuuze yategeezezza nti ekisinga okubeeralikiriza be baana abatambulira ku luguudo luno nga bavaku masomero.
 Omubaka wa Busiro East, Medard Lubega Seggona asinzidde mu kuziika omugenzi Kiwanuka n’ategeeza nga bwe yalaajaanira abaakola oluguudo luno okulwongeramu
obugulumu bwe baali tebannaluggyako ngalo wabula tebaamuwuliriza.
Seggona yatenderezza Kiwanuka nga bw’abadde omuntu ow’enjawulo ennyo naddala mu
kkanisa mwe babadde bonna mu kitongole kya Father’s Union.