Ffamire MmengoFfamire y’omuyimbi Ssemakula etutte amakula e Mmengo

OMUYIMBI Mesach Ssemakula akulembeddemu ffamire y’Omumbowa wa Kabaka Ssenkoole e Buwaate-Kira ne baleeta e Mmengo amakula ga nte bbiri eziri amawako n'oluwalo lwa 5,500,000/-.

Katikkiro Mayiga ng’ayaniriza ffamire y’omuyimbi Ssemakula (awasonze akasaale).
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMUYIMBI Mesach Ssemakula akulembeddemu ffamire y’Omumbowa wa Kabaka Ssenkoole e Buwaate-Kira ne baleeta e Mmengo amakula ga nte bbiri eziri amawako n'oluwalo lwa 5,500,000/-.
Yabadde ne Edward Mukiibi Ssenkoole V akulembera oluggya lwa Ssenkoole mu Kika ky'Olugave ne babikwasa Katikkiro Peter Mayiga e Mmengo.
Ye Ssemakula yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’okukkiriza bajje bakyaleko mu Butikkiro era ne yeeyama okutandika omutimbagano okubeera buli kalonda akwata ku ffamire ya Ssenkoole n’okumaliriza okuwandiika ekitabo ekimukwatako abantu bakisomeko.