ENKAAYANA z'ettaka e Seguku zisitudde omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga ez’enjawulo Phionah Barungi gyagenze ,nayimiriza byonna ebikolebwa ku ttaka erikayanirwa nga agamba kuliko ekiragiro kya Kkooti ekibayimiriza kye bajjemera ne kitatekebwa mu nkola
“Ndi wano kuteeka mu nkola kiragiro ekyayisibwa Kkooti ekiyimiriza byonna ebikolebwa ku ttaka lino. Tutekeddwa okuwa Kkooti zaffe ekittibwa , omulamuzi yayimiriza byonna ebikolebwa ku ttaka kyokka mwagenda mu maaso ne muzimbako Kkalina . Temulina yadde pulaani kubanga ya bizimbe kubanga ettaka likayanirwa tewali yabawa kyapa ‘ Barungi bweyagambye

Famire ezikaayanira ettaka nga ziri mu lukiiko
Ettaka liri ku bulooka 377 poloti 129 nga likayanirwa e Kkanisa ya World Answers Church International eya Apostle Jeremia Sebakijje ne ffamire y’omugenzi Christopher Kaweesa.
Barungi yalagidde Davis Seremba eyagambye nti yinginiya alinawo ekizimbe ne mwannyina , okuyimiriza abakozi bonna ababadde waggulu ku Kkalina , nasaba Joseph Lukyamuzi eyabaguza asabe Kkooti okwanguyirizaako okukola okusalawo okwenkomeredde balyoke bazimbe .
Barungi yabadde agenze ku ttaka lino erisangibwa ku kyalo Busawula Seguku Katale mu disitulikiti ya Wakiso okuteeka ekiragiro kya Kkooti mu nkola n’okusangulawo obulimba ku bimwogerwako nti ku ttaka lino alinako Kkalina . Barungi bamulengeza Kkalina gye bagamba nti yiiye ne bamenye n’abakungu abalala okuli RDC wa Wakiso Justine Mbabazi nti kye bava bazimba teri abakuba ku mukono .
Barungi yagambye nti ab’eKkanisa eno batukirira offisiye nga beemulugunyiriza ffamire ya Kaweesa okujjemera ekiragiro kya Kkooti ekyayisibwa nga 24 Dec 2024 ekiyimiriza byonna ebikolebwa ku ttaka lino okuli enkayana kyokka ne bajjema nga kati bazimbyeko Kkalina .
Ramadhan Kawere nga ye looya we Kkanisa eno, mu lukiiko yagambye nti bagula ettaka lya yiika ttaano ku landiloodi omugenzi Christopher Kiwanuka Kawagama ku bukadde 75 n’abakwasa ekyapa mu 2006 . Basooka kuligulira mu mmanya ga Herbert Sebakijje , David Nambale ne Magret Mayiga mukyala Katikiro oluvannyuma ne baliza mu linnya lye Kkanisa nge wandiiddwa

Lukyamuzi gwebalumiriza okutnda ettaka lya Famire
Kiwanuka yalina ettaka lya yiika 22.8 kyokka nga kuliko abatuuze .Yakomawo okuva e Bulaaya nasaba abalina ssente okwegula abalala bateeseganya nabasalira ku bibanja nabakolera ebyapa.
Omugenzi Christopher Kaweesa yali omu ku bebibanja eyalinako yiika 8 ne decimal 80 ne bakkanya ne Kiwanuka eyamulekeerako yiika satu. Wabula Kaweesa yasaba Kiwanuka amwongereyo yiika endala bbiri ne bakkanya azigule obukadde 12 . Kyokka Kaweesa yasasulako obukadde mukaaga kwe ku mwongera yiika emu kubanga ssente endala zamulema okumalayo nafuna ekyapa kya yiika nnya mu 2007.
Kiwanuka bakkanya ne Kaweesa nti Joseph Lukyamuzi abadde akolerawo ku ttaka wakuvaawo obutasuka 6/Jan /2006 nawebwa 200,000/- nokusalamu kalitunsiwe yenna oluvannyuma Kkanisa wonna nesibawo sengenge.
Wabula Lukyamuzi ne banne bakozesa ebiseera bya Covid 19 ab’ekkanisa nga tebakyagenda kulambula emyaka ebbiri ne bezinga ku ttaka ne basimbako ebitooke ne birala .
Mu 2024 Kkooti yalasawo buli kikolebwa kigira kiyimirizibwa okutuusa nga bakoze okusalawo okwenkomeredde nga wonna tekuli mayumba nga bagazimbyeko ku supiidi . 
Ezimu ku nnyumba ezizimbiddwa ku ttaka erikaayanirwa
Wabula lukyamuzi yategeezeza nti ettaka lyamuwebwa kitawe nga akyali mulamu era ababaddeko nga alikozesa ebbanga lyonna .
Wabula abenganda za Lukyamuzi bamulumiriza okwezinga ku ttaka lya kitabwe lyonna natuka n’okubegaana nti tabamanyi nga tabakiriza mu ntu yenna kulinyako nalitunda .Yagambye nti beteegefu okuteeseganya ne Kkanisa ku nsonga zino ne basaba Barungi okubatuuza .
Wabula Barungi yagambye bwe baba bagala aziberemu bakumuwandikira nga bamusaba muteerevu.